Sunday, October 11, 2020

Ameefuga g'emyaka 58: Uganda by'erina okukola okuzimba obwetwaze mu byenfuna

Ameefuga g'emyaka 58: Uganda by'erina okukola okuzimba obwetwaze mu byenfuna





Ebyenfuna bya bannansi kwe kwazimbirwa obwediimo bwonna obwassibwawo okulwanirira obwetwaze nga bannansi baagala okwenyigira obutereevu mu busuubuzi nga baagala n'okusasulwa ssente ezeegasa mu ppamba n'emmwaanyi ze baalimana.

Bwe twafuna obwetwaze mu 1962, ebyenfuna byajja bikyukakyuka mu ngeri nnyingi olw'omuyaga ogwalingawo n'entalo mu gavumenti ezizze zibaaw.,

Nga tujaguza emyaka 58 egy'Ameefuga, abantu ab'enjawulo balaga engeri ebyenfuna bya Uganda gye bizze bigootaana n'ekirina okukolebwa okufuna obwetwaze mu byenfuna.

 OMUTINDO GW'EBINTU BYE TUKOLA GWETAAGA OKULINNYA

Isack Moses Kasule, wa byanfunna owa kkampuni ya  IMK Business Consultancy agamba;

Obwetwaze mu byenfuna butandikira ku bungi bw'abantu abali mu ggwanga,  bafuna batya?, bakola ki, babakozesa oba beekozesa, balina bye batondawo okufunamu ssente?  bye bakola bakozesa ki,  ebiva ebweru w'eggwanga  byenkana wa? Ebibuuzo bino biyamba okumanya eggwanga oba lirina obwetwaze mu byenfuna oba teririna.

Ensi okukulaakulana yeetaaga okuba  ng'ebintu by'etunda mu nsi z'ebweru nga bingi okusinga by'egulayo, nga mulina ebintu bye mukola mu nsi yammwe ne mubitunda ebweru nga bingi,  ssente ne muzireeta mu ggwanga lyammwe.

Twetaaga ssente nnyingi eziyingira eggwanga naye nga si nneewole, nga zaffe bwoya eziva mu bye tuba tutunzeeyo.

Okwongera omutindo ku bikolebwa wano kikulu mu kufuna obwetwaze bw'ebyenfuna, okugeza, emmwaanyi nga tetuzitunda nga nnamba nga bwe tuzikaza, tuzisunsula ne tuggyamu kase ne tuzisiba  bulungi oba ne tukolamu kaawa omulungi ow'emmwaanyi enfumbeko n'akawoowo ako ne tumutwala ne tumutunda ebweru w'eggwanga ku ssente ezeegasa.

Naye ffe emmwaanyi tuzirima netuzitunda nga nkalu nnamba , ate abazigula bwe bazitwala bazirongoosa ne bakolamu ebintu  ne babikomyawo ate ne babituguza ku buwanana,twetaaga okutunda ebintu ebirinnyisiddwa era ebyongeddwaako omutindo.

Ebyenfuna  by'eggwanga tebisobola kuba birungi era tetusobola kuba na bwetwaze bwabyo nga tetutunda bintu byongeddwaako mutindo.

Essira tulisse ku kulinyisa omutindo ku bintu bye tukola wano, tubitunde ebweru w'eggwanga mu bungi, olwo ebyenfuna byaffe birinnye.

Ebyenfuna bwebiyimiridde akaseera kano ssi birungi, kubanga bye tutunda ebweru bitono ate ne siringi yaffe ya layisi ku ddoola,  ekiraga nti amaanyi gaffe ku bye tutunda ebweru gakyali wansi.

Gavumenti yeetaaga okuyamba okutereeza ebyenfuna by'eggwanga,  olwo nayo eyongeze ku musolo gw'eggya mu bantu ng'ebyenfuna biteredde, erina okuteekawo enkola eyanguya enkola y'emirimu.

Twetaaga  amateeka amalungi, ng'amasiga okutambulirwa eggwanga okuli essiga eddamuzi , essiga effuzi ne Paalamenti  nga byetengeredde, nga teri kitongole kirinnyirira kirala kuba by'ebitongole ebifuga ensi, nga teri kiragira kirala kuba buli kimu ku bwakyo kisobola okufuga.

Enguzi yeetaaga okulwanyisibwa,  etyobodde n'ezza emabegga ebyenfuna, amateeka geetaaga okukola, Uganda erina amateeka amalungi naye tegakola, okuwa amateeka ekitiibwa kyetaagisa mu kusitula ebyenfuna.

Uganda yetaaga okulwanyisa enguzi n'okukyusa ku nkola y'obukulembeze okuteekamu bamusigansimbi obwesige basobole okuleeta kuno ssente nga tebalina kutya.

Twetaaga okufuna omwoyo ogulumirirwa ensi yaffe era ogugikulembeza mu buli kintu. Bajeti yaffe tugiteeke nnyo ku byobulimi tubisitule kubanga gwe mugongo gw'enfuna yaffe, tusitule ebyobulimi ate bye tulimye tubyongereko  omutindo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts