BADDEREEVAn'abatambuze bajereze Poliisi y'e Masaka okubeera n'omugangatika gw'ekimmotoka ekizikiriza omuliro.
Bagikolokose olw'okubakwatanga entakera nti mmotoka zaabwe nkadde ne babaweesa n'engassi so ng'ekyabwe kikadde nnyo kye basibisa n'emiguwa ekitalina kubeera ku luguudo.
Bongedde okubayiwako olunnyata olw'okuleeta ekimmotoka kya Fire nga kitonnya mu kifo awabadde waggaliddwa ekimmotoka ky'amafuta ne bataleeta mmotoka ya Kasiringi okugisikawo.
Akulira Poliisi y'ebidduka mu greater Masaka ASP Godfrey Mwesigye ategeezezza nti eno y'emmotoka ya Fire yokka gye balina ekola mu bbendobendo lyonna.