ABA Famire weeyali dereeva wa Dr Kiiza Besigye owa FDC, Haji Asman Ssemakula eyawambibwa mu kiro ekyakeesa ssande, babaze ekiwandiiko ekiragira kkooti eteeke akazito ku gavumenti eragire ebitongole byeby'okwerinda byonna mu ggwanga, okuleeta omuntu waabwe mu mbeera yonna gy'alimu.
Baabadde mu maka ga Ssemakula eyawambiddwa, e Busega mu Kibumbiro zone B, nga basisinkanye bannamawulire okwogera ku kubulawo kw'omuntu waabwe.
Fatumah Nansimbi, muwala wa Ssemakula agambye nti, okuva kitaabwe bweyabuzibawo mu kiro ekyakeesa ku ssande, bamunoonyezza buli wamu abuze, baagenda ku poliisi zonna n'ebitongole byeby'okwerinda eby'enjawulo wabula kitaabwe abuzeeyo.
Agambye nti, ku mmande basiibye Kireka ku kitogole kya SIU ne ku CMI batuuseyo nga bayamabibwako bantu ab'enjawulo, wabula yonna beegaanyi okuba nga beebalina kitaabwe ekintu ekibatakuza emitwe.
Nga bayita mu balooya baabwe okuli; Elias Lukwago loodimeeya ne munnamateeka Yusuf Nsibambi, bategese ekiwandiiko kyebatwala mu kkooti ewe ekiragiro kya "Habius corpus" eri gavumenti eteeke akazito ku bitongole byayo ebikuumaddembe byonna mu ggwanga, okuleeta Ssemakula mu bwangu mu mbeera yonna gy'alimu oba mulamu oba mufu.
Aba Famire bongedde okutya olw'amagye, poliisi n'aba LDU abaakeddeo kweyiwa mu maka ga Ssemakula okwetoloola ennyumba yonna n'ekitundu kyonna, nga buli w'okuba eriiso muserikale gw'olaba ekintu ekyabatiisizza abatuuze nga beebuuza kiki ekigenda maaso.
Omu ku b'amagye alabidddwaako ng'ayingira mu kikomera ky'ennyumba emmanju ekireetedde aba famire okwebuuza oba aliko kyaleese okukweka awaka bamale bajje bakizuule bagambe nti bakisanze waka.
Vincent Mbaziira, akulira poliisi y'e Nateete nga naye abaddewo ategeezezza nti, baafunye amawulire nga bwewaliwo abantu abategese okukola effujjo mu kitundu kino, kwekuyiwa abaserikale okukuuma emirembe , nti naye nabo nga poliisi y'e Nateete tebalina kyebamanyi ku kuwambibwa kwa Ssemakula.