Abatuuze abasoba mu 500 ku kyalo ky'e Mmanja mu ggombolola y'e Kisekka mu disitulikiti y'e Lwengo bakedde kwekalakaasa nga bawakanya eky'omugagga Ramathan Bwanika okubagoba ku ttaka lyabwe.
Bano baweereddwa emyezi esatu okusenguka oluvannyuma lwa kkooti y'e Masaka okubalagira okuvaawo mu bwangu.
Abatuuze bano nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Resty Nakakande bakitadde ku mubaka Hajji Muyanja Mbabaali eyabafera n'abafunira looya ate nadda ku ludda lw'omugagga ono.
Kigambibwa yabalagira okuteeka emikono ku mpapula enkalu kyokka nassaako nti basembye beerule empenda kye bagamba nti si kituufu.
Omugagga Bwanika asekeredde abatuuze bano n'agamba nti bali ku byabwe kubanga yabasaba okusasula busuulu ne bagaana nga babiyita bya lusaago ng'ate ettaka lilrye.
Ettaka lino liweza yiika 275 nga Gavumenti yaliwa omugagga ono okumala emyaka 49 ng'alikolerako.