Okuva munnamawulire Chris Wallace ow'omukutu gwa FOX, eyabadde akubiriza okukubaganya ebirowoozo kuno lwe yalagidde Trump okutandika okunnyonnyola ensonga, yasimbukidde mu ggiya n'atandika okuvuma Biden nga kw'atadde n'okuwogganira waggulu obutamuganya kubaako ky'ayogera.
BIDEN YAVUDDEKO WAYA
Biden mu kwetaasa naye yavuddeko waya n'alangira Trump okuba ddikuula era Pulezidenti akyasinze obubi mu byafaayo bya Amerika! Trump ebivumo bya Biden tebyamukanze n'ayongera okumusojja nti mutabani we omukulu (Hunter Biden) akola gwa kutambuza njaga na biragalalagala mu Russia ne Ukraine!
Kano kaabadde kaswanyu kennyini akaanoze Biden era yalabise ng'ayisiddwa bubi Trump okunonooza ffamire era amangu ago n'amwambalira nti, "bunira!"
ABATUNUULIRA EBYOBUFUZI BOOGEDDE
Abatunuulizi b'ebyobufuzi baategeezezza nti okukubaganya ebirowoozo kuno, kwe kukyasinze okuba okwomunguuba mu byafaayo by'eggwanga lyabwe era kwassizza nnyo omutindo gwa demokulaase wa Amerika. Ensiitaano eno yabadde mu ssaza ly'e Ohio, erimu ku masaza agasalawo mu kalulu mu kibuga Cleverland. Ensonga kwe baasinze okutambulira kwabaddeko ebyenfuna, ssennyiga omukambwe ssaako n'okusosola mu Baddugavu mu nkola eyitibwa (White Supremacists) n'ebirala.
Ensonga y'obusosoze mu Baddugavu yabaddeko kalumannywera, Wallace bwe yabuuzizza Trump oba akimanyi nti ensi gy'afuga erimu obusosoze buno obwavaako n'ekisinde ekiyitibwa BLM (Black Lives Matter). Trump mu kwanukula yatandise ng'anaavumirira Abazungu abatulugunya n'okutta Abaddugavu kyokka mu kaseera katono yagaanyi era n'agamba nti oludda lw'Abaddugavu naddala omuli bannalukalala lwe lusaana okutunulwamu okutereeza.
TRUMP BAAMULANGIDDE OBUSOSOZE
Kino kyasaanudde Biden n'amulumba n'okumulangira obusosoze.Wano Trump teyaganyizza Biden kumusiimuulizaako ttoomi n'amujjukiza nti mu 1994 nga Biden ye ssentebe w'akakiiko ka Judicial Committee mu lukiiko lwa Senate, baali bayisa etteeka ku bumenyi bw'amateeka Biden n'agamba nti "Abaddugavu nsolo zennyini ezitaayaaya ku nguudo za Amerika"!
Kyokka bino Biden yabyegaanyi era n'alangira Trump okuba ka ‘ssemufu' (Puppet) ka Russia ekitegeeza nti Trump kifaananyi Putin ne Russia kye bakozesa okukola bye baagala mu Amerika.
Ku nsonga ya ssennyiga omukambwe, Biden yalangidde Trump okukekkera n'okusooba ng'ekirwadde kitta Abamerika okubalamawo (ssennyiga yaakatta abasoba mu 200,000), n'amuwa amagezi nti olulala alina okuba omujagujagu ssinga ensonga bw'eti egwawo!
TRUMP YANYOOSE
Trump yamubakidde tannamaliriza n'ayiwa olunyata: "toddangamu n'oyogera ekigambo okubeera omulabufu oba omugezi (Smart) ng'oyogera ku nze. Nkakasa ggwe omu ku baali basemba mu bibiina ng'osoma era toyinza kuba omu kw'abo aboogera ekigambo omulabufu oba omugezi!
Wano Biden ne Wallace baatunuulidde Trump nga tebamutegeera kuba bye yayanukudde byabadde biraga nti ensonga za Biden teyazitegedde naye ekyo tekyamulobedde kugenda mu maaso ng'asuulawo ensonga emu ate bw'agira n'adda ku ndala okuva ku kuwa emisolo gye mu budde, okubeera Pulezidenti wa Amerika akyasinze okukola, okukolera ennyo ebyenfuna n'Abaddugavu, okugamba nti okulondera ku posita babbiramu obululu n'ebirala.
Bino Biden yabyanukuzza ebigambo bitono nti: Trump ensi yonna ekumanyi oli mulimba! Kyokka ab'omukutu gwa CNN baafulumizza ekiwandiiko ng'okukubaganya ebirowoozo kwakaggwa ne balaga nti ebimu Trump bye yayogedde bya bulimba.
ANI YAWANGUDDE LAWUNDI EYASOOSE!
Trump ne Biden baagenze mu lawundi eno ng'ekimu ku biri ku mimwa gy'Abamerika kya kuzuula ku bombi ani akyalina embavu okuyimirira mu bukkakkamu wakati mu kuvumibwa n'okujolongebwa n'obwongo obusaza ekimu! Yadde Biden (78) mukadde okusinga Trump (74), Biden ekigezo kino alabika yakiwangudde.
Embeera Trump mwe yamuyisizzza baabadde basuubira nti ‘anaayabika' naye yalaze abaabadde bamubuusabuUsa nti akyalina sitamina.
Enkambi ya Biden yagenze ku lawundi eno ng'enoonya kwongera kulaga nsi nti Trump enneeyisa ye tesaanidde kubeera mu ntebe ya buvunaanyizibwa bw'etyo era nakyo yakituukirizza Trump ababadde bamubuusabuusa baamutegedde!