Abadde alumizibwa endwadde ttaano. Abadde ne ssukaali, ekibumba nga nakyo kirwadde, alusa (ulcers), puleesa.
Gye buvuddeko baamukebera oluvannyuma lw'omuwala okumulumiriza okumuzaalamu omwana n'atamulabirira n'okumusiiga siriimu.
Kyazuulwa nga Yiga alina akawuka akaleeta siriimu. Kigambibwa nti abadde yeekwata ku butambi n'abutereka era buli lwe wabaawo abagamba nti muyi ng'akozesa obutambi obwo okubuzannya ku ttivvi ye eya ABS ne ku mikutu gya ‘social media' okulaga nti ye mulamu katebule.
ATANDIKA OKUNAFUWA
1 Okunafuwa kyatandika ku bagezigezi abaamusomera ddiiru y'okugenda e South Afrika okutandikayo ekkanisa. Yakozesa ssente nnyingi ezaamutuusa n'okutunda ebimu ku bintu bye okuli ennyumba e Bulange mu Lubaga, ettaka n'emigabo mu ttivvi.
2 Ekirala yanyigibwa embeera y'obudde ey'obunnyogovu mu South Afrika ate nga yalinayo abayambi batono.
3 Yakomawo omwaka oguwedde 2019 ng'alabika bubi olw'obulwadde n'okumufera. Okulaga nti alina amaanyi yakola katemba bwe yeekubya ebifaananyi ng'ali mu ssanduuke y'abafu, n'okwambala ng'Omusiraamu.
Oluvannyuma yeetonda ng'Abasiraamu okuli Sheikh Nuuhu Muzata bamutaddeko akazito okuvvoola eddiini yaabwe. Yaddamu ne yeezimba okutuusa mu March 2020, Pulezidenti lwe yalangirira kalantiini, okuggalawo amakanisa n'ebirala okulwanyisa corona. Yiga yavaayo n'awakanya okuggala amakanisa kubanga eyo bizinensi ate nga ne corona taliiyo.
4 Yakwatibwa n'aggalirwa mu kkomera e Kitalya. Yayisibwa bubi nnyo olw'obutaba na ddagala n'ebyokulya. Omulamuzi Timothy Lumunye okumuyimbula yamala kufuna bukakafu nga Yiga alina ssukaali n'obulwadde obulala. Obulwadde bwamunyinyitira wiiki ssatu eziyise n'atwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya.
Yamalayo ennaku ntono n'azzibwa ewuwe nga gy'ava okugenda mu ddwaaliro. Omusawo we yasemba aweebwe ekitanda. Ku ntandikwa ya wiiki ewedde yeeyongedde okuba obubi n'assibwa mu kifo awajjanjabirwa abalwadde abayi. Ku Lwokutaano oluwedde amawulire gaasaasaanye nga gamubika.
Mutabani we, Andrew Jengo gwe yatendeka era gw'akola naye obusumba y'amubadde ku lusegere. Era ye yamubise mu butongole.