Friday, October 9, 2020

Engeri gy'olimira ku yiika 4 n'ofunamu

Engeri gy'olimira ku yiika 4 n'ofunamu




Kino kitegeeza nti ebyobulimi abantu bye balina okukozesa okukuza ebyenfuna by'eggwanga n'okukyusa obulamu bw'abantu baffe.

Eky'omukisa abantu bangi badduukiridde omulanga gwa Pulezidenti era batandise okugaziya enfuna yaabwe nga bayita mu byobulimi.

Mu pulogulaamu y'okulimira ku yiika ennya, yiika emu ekozesebwa okulimirako ebirime eby'okutunda, okugeza emmwaanyi za kkolono.

Ebikolo 450 bisobola okusimbibwamu ng'okozesezza 500/- ku buli kimu, bw'obalamu omugatte ze 22, 500/-. Bwe zikula buli kikolo kivaako kkiro z'emmwaanyi eziri wakati wa 5-7.

Ssinga omuntu azitunda nga tezongeddwaako mutindo, omulimi asobola okufunamu ssente eziri wakati w'obukadde 9-12.6, buli mwaka.

Yiika y'ettaka endala ekozesebwa ku kulima bibala nga emiyembe. Endokwa z'emiyembe 33 zigula 4,000/- buli gumu ng'omugatte zibeera 132,000/-.

Bwe gikula buli kikolo kisobola okuvaako emiyembe 800 nga bwe gitundibwa mu butale obwa wano ku 500/- buli mulembe, ofunamu obukadde 21 buli mwaka.

Yiika endala ekozesebwa okulunda ente ez'amata, okugeza okulimako emiddo egirabirira ebisolo nga ebisagazi n'okulundirako ente emu ey'olulyo ey'amata.

Okutwaliza awamu, ente eya maleeto esobola okuvaamu liita z'amata 20 buli lunaku. Ffamire bw'enywako liita ttaano (5) olwo ezifi kkawo 15 ne zitundibwa buli emu ku 1, 200, kitegeeza nti omulunzi aba afuna obukadde 2 buli mwaka.

Yiika eyookuna limirako emmere nga kasooli, ebijanjaalo, ebinyeebwa, muwogo n'ebirala. Mu nnimiro eno omulimi alina okufuba okutabikamu ebirime eby'enjawulo okulaba ng'afunamu.

Ennima ey'engeri eno esobola okumalawo ebizibu by'omulimi ebitundu 90 ku buli 100 sinakindi n'okubimalawo byonna.

Kino kireka omulimi ng'alinawo ku ssente ate ng'asobola n'okufi ssaawo akadde akakola emirimu emirala egivaamu ensimbi n'okuwummulamu.

OKUSINZIIRA ku lipooti y'okubala
abantu eya 2002, Bannayuganda 68 ku
buli 100 bayimiriddewo ku byabulimi
kyokka ng'ebitundu 80 ku bo bakyali ku
nnima ey'edda etefuna.
Kino kitegeeza nti ebyobulimi abantu
bye balina okukozesa okukuza ebyenfuna
by'eggwanga n'okukyusa obulamu
bw'abantu baffe. Eky'omukisa abantu
bangi badduukiridde omulanga gwa
Pulezidenti era batandise okugaziya enfuna
yaabwe nga bayita mu byobulimi.
Mu pulogulaamu y'okulimira ku yiika
ennya, yiika emu ekozesebwa okulimirako
ebirime eby'okutunda, okugeza
emmwaanyi za kkolono. Ebikolo 450
bisobola okusimbibwamu ng'okozesezza
500/- ku buli kimu, bw'obalamu omugatte
ze 22, 500/-. Bwe zikula buli kikolo
kivaako kkiro z'emmwaanyi eziri wakati
wa 5-7. Ssinga omuntu azitunda nga
tezongeddwaako mutindo, omulimi
asobola okufunamu ssente eziri wakati
w'obukadde 9-12.6, buli mwaka.
Yiika y'ettaka endala ekozesebwa ku
kulima bibala nga emiyembe. Endokwa
z'emiyembe 33 zigula 4,000/- buli gumu
ng'omugatte zibeera 132,000/-. Bwe
gikula buli kikolo kisobola okuvaako
emiyembe 800 nga bwe gitundibwa mu
butale obwa wano ku 500/- buli mulembe,
ofunamu obukadde 21 buli mwaka.
Yiika endala ekozesebwa okulunda
ente ez'amata, okugeza okulimako
emiddo egirabirira ebisolo nga ebisagazi
n'okulundirako ente emu ey'olulyo
ey'amata. Okutwaliza awamu, ente eya
maleeto esobola okuvaamu liita z'amata
20 buli lunaku. Ffamire bw'enywako
liita ttaano (5) olwo ezifi kkawo 15 ne
zitundibwa buli emu ku 1, 200, kitegeeza
nti omulunzi aba afuna obukadde 2 buli
mwaka.
Yiika eyookuna limirako emmere nga
kasooli, ebijanjaalo, ebinyeebwa, muwogo
n'ebirala. Mu nnimiro eno omulimi
alina okufuba okutabikamu ebirime
eby'enjawulo okulaba ng'afunamu.
Ennima ey'engeri eno esobola okumalawo
ebizibu by'omulimi ebitundu 90
ku buli 100 sinakindi n'okubimalawo
byonna.
Kino kireka omulimi ng'alinawo ku
ssente ate ng'asobola n'okufi ssaawo
akadde akakola emirimu emirala
egivaamu ensimbi n'okuwummulamu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts