Kangave nga mu kiseera kino akolera ku kitebe kya Poliisi e Naguru ayanjuddwa mu maka g'omuwandiisi w'obulabirizi bw'e Mukono, Rev. Canon John Ssebudde.
Emikolo gino gyetabiddwako omulabirizi w'e Mukono eyawummula, Bp. Eria Paul Luzinda Kizito, bassaabadiikoni ab'enjawulo omuli, ow'e Ndeeba, Edward Balamaze, David Mpagi ow'e Seeta, Ven. Godfrey Ssengendo ow'e Nassuuti, Provost wa Lutikko y'e Mukono, Rev. Canon Enos Kitto Kagodo, n'abalala.
Abagenyi abalala abataalutumiddwa mwana kuliko, meeya w'ekibuga Mukono, George Fred Kagimu, ssenkulu w'ekitongole ekirwanirizi eky'eddembe ly'obuntu ekya Foundation for Human Right Initiative, Dr. Livingstone Ssewanyana, eyaliko omuwanika w'e Mengo, Eva Nagawa, n'abalala.
ku mukolo ogubaddeko abantu abagere olw'embeera y'ekirwadde kya COVID 19 nga babadde balina okugoberera ebiragiro bya minisitule y'eby'obulamu.
Ye Kangave awerekeddwako ab'apoliisi okuli; SSP Zuhura Ganyana okuva ku kitebe kya poliisi e Nagguru, ne ASP James Ofono naye akolera ku kitebe kya poliisi e Naguru.
Abalala kuliko; Moses Ssemakula akolera mu yunivasite e Makerere, Rev. Esmond Sserunjogi, Ying. Musa Ssegabwe, Haji Yakub Bazaala akola mu bank of Uganda, Stewart Mukiibi okuva mu yunivasite e Makerere n'abalala.