Kitara FC - Kataka United FC
Kiboga Young FC - Ndejje University FC
Gyonna giri Njeru technical center e Jinja.
OLUVANNYUMA lw'emyezi 7 ng'ebyemizannyo byaggalwa olwa Covid-19, leero (Mmande) ttiimu za Big League ziri mu nsiike okubbinkanira ekifo ky'anakiika mu ‘Super' sizoni 2020/21 ebindabinda.
Obusungu bwa Kitara FC sizoni ewedde okulemererwa okwesogga ‘Super' bwe yakubirwa ku mutendera gwa ‘playoffs' e Lugogo, eyagala kubumalira ku Kataka eyaakatuuka ku mutendera guno omulundi ogusooka mu sizoni ttaano z'emaze mu Big League.
"Eno sizoni yaffe ya 4 mu Big League, omwaka oguwedde twalemererwa naye kuluno tetugenda kukkiriza jjoogo," Joshua Atugonza akulira emirimu mu Kitara bwe yaweze.
Sefu Wasike amyuka akulira emirimu mu Kataka United amwanukudde nti ennyonta gye balina ey'emyaka etaano nga tebava mu kibinja ku luno bagala kwekutulako kkoligo era bamaliridde okufa n'omuntu.
Mu ngeri y'emu Kiboga Young etendekebwa Richard Makumbi eyaakasuumusa ttiimu za Big League 9 mu byafaayo attunka ne Ndejje University ebadde yaakasalwako okuva mu ‘Super' sizoni ewedde nga baagala kukomawo.
"Tetufunye kutendekebwa kumala olw'embeera ya Covid-19 naye ate tuli mu mbeera nnungi era tugenda kufa n'omuntu," Makumbi bwe yategeezezza.
Raymond Komakech atendeka Ndejje agamba nti obumanyirivu bwe baafuna mu ‘Super' sizoni ewedde bwe bugenda okubawa enkizo. "Omupiira si gwa bigambo era ffe tujja nabikolwa," Komakech bwe yakakasizza.
Ttiimu zonna zisuzibwa Njeru era ababiri abayitawo leero(Mmande) baakuttunka enkya ku fayinolo.