Friday, October 2, 2020

Kayanja asabidde eggwanga okuyita mu kalulu emirembe

Kayanja asabidde eggwanga okuyita mu kalulu emirembe




Mu kusaba kuno Kayanja yalaajanidde Katonda okukuuma Uganda okuvaamu Corona, okubukalamu emirembe n'emikisa. Okusaba kwatambuliziddwa ku mulamwa ogwaggyiddwa mu Bakkolinso ekyokubiri, 7:14

" Abantu bange abaatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowozanga ,ne basaba, ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu naasonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe."

Kayanja yagambye nti Bannayuganda bakoze ebintu ebikyamu bingi ne bava ku ng'ombo y'eggwanga lino egamba nti ku lwa Katonda n'ensi yange.

Ono era yasabye bannabyabufuzi okukomya okuyisa be bavuganya nabo ng'abalabe baabwe kino bakikoke olw'emirembe mu ggwanga.

Yagambye nti Katonda alina ensonga lwaki yatuteeka mu ggwanga lino n'ayongerako nti abantu balumizza bannaabwe kyokka wakyaliwo ekiseera okuwona, okusumululwa ssaako okufuna omukisa.

Kayanja yagambye nti Bannayuganda basaana beesabire kinnoomu okumalawo enjawukana mu mawanga ezifumbekedde mu bantu.

Yasabidde Pulezidenti Museveni, ffamire ye ssaako baminisita Mukama abongere amagezi okutambuza eggwanga lino. Omusumba Jessica Kayanja yagambye nti kye kiseera abantu okwewaayo eri Katonda beenenye ebibi byabwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts