Bya Basasi ba Bukedde
MINISITA wa Kampala, Betty Amongi, olwafunye ebbaluwa ya Pulezidenti n'atandikirawo okuteeka ebiragiro ku butale mu nkola. Wiiki eno batandika enteekateeka okulondesa obukulembeze obuggya.
Okuva September 25, Pulezidenti lwe yaweerezza ebbaluwa, Amongi yategeezezza Bukedde nti yalondeddewo olukiiko lw'abakugu ababadde beetooloola obutale nga bazuula ebinyigiriza abantu. Ying. David Luyimbaazi, omumyuka wa Nankulu wa Kampala yagambye nti olukiiko minisita lwe yalonze luliko abakugu okuva mu kitongole ky'ekikula ky'abantu, ekiwooza omusolo, ekikwasisa amateeka
n'abakulembeze abalala.
Amongi agamba nti ekigendererwa ekikulu kibadde okuzuula oba ddala abantu bakyanyigirizibwa nga babasoloozaako ssente ezimenya amateeka kubanga pulezidenti tayagala kunyigiriza muntu waabulijjo. Ying. Luyimbaazi agamba nti baatandikidde mu Owino gye baasanze nga kumpi buli ekikolebwa omuntu alina okukisasulira, ekidomola ky'amazzi nga kumpi kigenda mu 400/- ne basalawo bakigule ku 50/-.
"Mu kiseera kye kimu tukyali mu kwebuuza ku Ssaabawolereza wa gavumenti atuwabule ku ngeri gye tulina okukwatamu ensonga y'obutale obutali bwa gavumenti.
Waliwo etteeka eriruhhamya obutale erya 1942 eriragira gavumenti okulabirira obutale," Amongi bwe yaggumizza.
Etteeka lyali lya kulugamya butale nga bamanyi buli mu mikono gya gavumenti wabula ekiseera kino obutale obw'obwannannyini weebuli. Olukiiko bwe lwasindise okulambula obutale lwakoze lipooti tugenda kutuula ku Lwakutaano okusalawo ekiddako tulabe nga tutegeka okulonda mu butale abantu basobole okwerondera abakulembeze be balaba nti tebagenda kubanyigiriza."
Ying. Luyimbaazi ayongera okulambulula nti ezimu ku nteekateeka ze bajja nazo kwe kulaba ng'abantu abakolera mu butale tebanyigirizibwa. Embeera gye tusanze mu butale eraga nti abakulembeze baggya ku bantu ssente nnyingi ekibasibidde mu bwavu
kubanga tebafissa za kubakulaakulanya.
PULEZIDENTI YAABADDE ALEMESA OBUTALE OKULONDA - LOODI MMEEYA
Loodi Meeya Erias Lukwago: Ekikulu kyandibadde kutereeza bukulembeze bwa butale
abantu ababubeeramu ne babeera n'obuyinza okwerondera abakulembeze
baabwe. Nga KCCA twakola dda etteeka ne tuliweereza ewa Ssaabawolereza wa gavumenti naye kati wayise emyaka esatu terikomangawo.
Ssaabawolereza wa gavumenti ne bw'awandiika ebbaluwa olwaleero ffe tuteeka etteeka mu nkola ne tulondesa abakulembeze mu butale, tuludde nga tutegeeza pulezidenti Museveni nti abantu banyigirizibwa ng'ababanyigiriza bantu ba pulezidenti
baamanyi obulungi.
ABAAKATALE K'E NATEETE BABISOMYE MU BUKEDDE
Ssentebe w'abasuubuzi mu katale k'e Nateete, Bony Kabugo, yategeezezza nti ebiragiro pulezidenti bye yawadde baabisomye mu Bukedde.
"KCCA yatusuulira dda akatale buli kimu ffe tukyekolera, okuyoola kasasiro n'enteekateeka endala zonna ffe tuzeetuusaako tewali buyambi
bwe tufuna kuva mu gavumenti.
Bwe batuyita mu nkiiko batutuuza batwawuddemu abali mu butale bwa gavumenti batuule ludda lwabwe naffe abali mu butale bwe bagamba nti
bwa bwannannyini batutuuza ludda lwaffe era sisuubira nti ebiragiro pulezidenti bye yawadde bitukwatako.
Akatale k'e Nateete kalimu abasuubuzi abasoba 4,000, era mu kiseera kino be bakeddukanyiza. Tulina ensonga za famire ya Issa Nnumba ekaayanira
ettaka okutudde akatale kaffe nti lyabwe.
Mmeeya wa Lubaga Joyce Nabbosa yagambye nti okuwa abasuubuzi obuyinza okulonda abakulembeze be baagala kirungi kyokka ne bwe basalawo okukikola tebalina tteeka mwe bagenda kukikolera kubanga KCCA lye yabaga, gavumenti
yagaana okulikakasa.