ABASIIGE ba Katonda nabo beetaaga okubasabira.
Ggwe ate wandirowoozezza nti ne kabona wa Mukama, asabira abantu ne bavvuunuka ebizibu byabwe, naye yandifukamidde okusaba omukisa? Naye kino bwe kyabadde ku mukolo gw'Obusosodooti bwa Faaza Agaba Liini Masaati, ow'ekibiina ky'Abaminsane ba White Fathers, ogwabadde ku kitebe kyabwe ekikulu, ku Lourdel House e Nsambya ku Lwomukaaga. Faaza John Leonard Kakinda nga y'akolera mu kigo ky'e Buyinjabutoole, mu ssaza lya Kiyinda-Mityana yeewunyisizza abantu bwe yalabye Faaza Masaati, ajjudde enneema, oluvannyuma lw'Omusumba Joseph Antony Zziwa okumugonnomolako ekkula ly'Obusosodooti n'ava ku ntebe ye n'afukamira mu maaso ga Masaati n'amusaba amusabire era naye teyamutenguye.
Waliwo Abakristu abaawuliddwa nga batendereza obwetoowaze bwa Faaza Kakinda anti ye yasomesa Faaza Masaati mu Seminario ento e Mubende, kale mu ngeri eno, baabadde tebamusuubira kufukaamirira mwana gwe yasomesa.