
Getwakafuna ge g'omuyimbi ow'erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng'ali n'omuyimbi Nina Roz ekirowoozesezza abantu nti yandiba nga yakyadde mu bakadde.
‘Tugende mu Church ofuuke my baby' ke kayimba Daddy Andre ke yaakayimba era bangi bagamba mbu osanga yakayimbidde mwana muwala ono. Abantu bangi bamuyozaayozezza okutuuka ku kkula lino naye ate waliwo abagambye mbu eno yandiba vidiyo y'oluyimba.
Wabula zo engambo zibadde zisusse okuyitingana nga bano bombi bwe bali mu mukwano naye bbo tebavaayo kukakasa nsonga eno.
Gye buvuddeko omuyimbi Angela Katatumba yavaayo n'ategeeza nga bwe bali mu mukwano ne Daddy Andre naye ne bakyawagana olw'ensonga ez'enjawulo.