Okukola liita za wayini 20 okuva mu nnaanansi.
Ø Wetaaga essepiki bbiri ennene obulungi nga zigula 200,000/- kuba olina kukolera ku bbaati eritatalagga. Wano weetaaga 400,000/-.
Ø Ekiddomola 7,000/-
Ø Sabbuuni w'amazzi ataliimu kawoowo 2,000/-
Ø Masiki ya feesi 5,000/-
Ø Obwambe 2 nga buli kamu kali ku 2,000/-.
Ø Olupiira olusengejja miita bbiri nga buli miita ya 2,500/- (5,000)
Ø Akapipa ka pulasitiika aka liita 40 ku 60 mw'akulira ka 35,000/-. Ne Airlock ya 5,000/-.
Ø Bulenda ekamula ebibala ya 200,000/- oba okukozesa akatimba akakola ku mmere (food grade net) ekidondi kya 500,000/-, oba akagoye akeeru akasengejja miita bbiri nga buli emu eri ku 2,000/- (4,000/-).
v Omugatte 467,000/- nga zino ozeetaaga mulundi gusooka
Ø Ennaanansi ennene 7-10 singa zibeera mu biseera bya nkuba nga sukaali mutono wabula singa gubeera musana, wetaaga 6-7. Buli emu mu kiseera kino egula 3,000/-. Wano weetaaga 15,000/- oba 20,000/- mu biseera by'enkuba ate mu kasana 13,000/- oba 15,000/- mu kasana.
Ø Weetaaga amazzi agaaokuzooza ebidomola bisatu nga buli kimu kiri ku 200/-.
Ø Weetaaga sukaali ssukaali. Bwe gubeera musana, kkiro nnya (12,000/-) ate mu nkuba kkiro ttaano (15,000/-).
Ø Weetaaga yisiti akola wayini obugiiko bwa sukaali buna. Akakebe ka yisiti omulungi aka 60gm kali ku 20,000/- nga katabula liita 60.
Ku myezi 8 oba omwaka gumu abeera atuuse kyokka singa omwongeramu okutuusa ku gumu kitundu oba ebiri bbeeyi erinnya.
Ø Weetaaga amacupa 25 eza 750ml buli emu ku 1,000/-. Gamalawo 25,000/-
Muno ofunamu amacupa 25 nga singa buli emu ogitunda 10,000/- ofuna 250,000/- songa bw'ogumamu n'otunda ku 20,000/- ofuna 500,000/-.
Wano weetaaga 58,266/-
Ø Omugatte ogw'awamu 525,266/-.
Gy'okoma okukola omungi gy'okoma okufunamu, naye nga kirungi n'otandika n'ebidomola nga bitaano nga bw'oyiga n'ebirala omuli n'okuzuula akatale akalungi.
Biwandiikiddwa Herbert Musoke okuva ku Steven Balyejjusa akola wayini ne RUCID, e Mityana.