Mu ngeri yeemu kuzudde nti Bannayuganda bongedde ku mirundi gye banaaba engalo buli lunaku mu kiseera ky'obulwadde bwa Corona okusinga bwe kibadde mu biseera ebiyise.
Bino byazuuliddwa mu kunoonyereza okwakoleddwa aba Twaweza ne bazuula nti abantu ebitundu 55 ku 100 kati banaaba engalo waakiri emirundi etaano olunaku.
Buli maka 10 osangako 8 abalina amazzi ne sabbuuni okunaaba mu ngalo nga bava mu kabuyonjo mu bitundu omwakoleddwa okunoonyereza.
Okunoonyereza kuno kwakoleddwa mu disitulikiti okulo Kampala, Kyotera ne Tororo ne bazuula nti omuntu anaaba engalo waakiri okumala obutikitiki 20 emirundi egiri wakati w'esatu n'etaano olunaku.
Okunoonyereza kuno kwafulumiziddwa ku Lwokusatu lwa wiiki eno olwabadde olunaku olw'okunaaba engalo mu nsi yonna.
Amaka ebitundu 99 ku 100 gabeeramu amazzi aganaaba mu ngalo wabula abanaaba nga bakozesa sabbuuni bali ebitundu 96 ku 100 okusinziira ku kunoonyereza kuno.
Abantu abasobola okufuna amazzi aga ttaapu bali ebitundu 23 ku 100 ate abasobola okukozesa sanitizer bali ebitundu 9 ku 100 bokka.
Abantu bakkirizza nti okunaaba mu ngalo bakiraba nga lyekkubo lye basing okukkiririzaamu mu nkola zonna ezizze zibaweebwa okulwanyisa Corona. Abanaaba mu ngalo oba okukozesa sanitizer ng'ekkubo ery'okulwanyisa Corona bali ebitundu 87 ku 100.
Okunoonyereza kuzudde nti abantu abasinga obungi engalo bazinaaba nga bava mu kabuyonjo, nga bagenda okulya emmera ne bwe babeera bamalirizza wabula abazinaaba nga bazzeeyo mu maka gabwe oluvannyuma lw'okutambula batono.
Source