Monday, October 12, 2020

Omuliro gusaanyizzaawo emmaali y'omusuubuzi

Omuliro gusaanyizzaawo emmaali y'omusuubuzi

Abatuuze  b'e Mulago mu Bekeeri Zooni basattidde omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze bwe gukutte edduuka lya mutuuze munnaabwe ne gusaanyawo ebintu bya bukadde omuli ne ssente enkalu.

Abatuuze baategeezezza nti omuliro guno gwasoose kukwata ku ssaawa 7:00 ez'ekiro nnannyini dduuka eyategeerekeseeko erya Charles ng'ali n'abamu ku bakozi be ne baguzikiza.

Baalowoozezza nti guweddemu kyokka ku ssaawa 10:30 ez'oku makya gwazzeemu okwaka era poliisi ezikiriza omuliro etuuseewo ku ssaawa 12: 00 ez'oku makya ng'amaali yonna esaanyewo.

Ismail Bangirana omu ku bakulembeze mu kitundu kino obuzibu abutadde ku poliisi ezikiza omuliro okulwangawo okutuuka ng'agamba nti ssinga yayanguye ebintu bya munnaabwe ebimu baalibitaasizza.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts