BYA MARGRET ZALWANGO
POLIISI etandika leero okukwata aba bodaboda n'emmotoka abavuga nga basussizza essaawa za kafiyu.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza nti abakulira poliisi wonna mu ggwanga bamaze okuweebwa ebiragiro okuddamu okukwata abagoba b'ebidduka bonna abanaasangibwa nga bavuga ng'essaawa za kafiyu zisusseemu kw'ezo ezaaweebwa pulezidenti.
Enanga abadde mu lukung'aana lwa bannamawulire ku kitebe kya Media Center mu Kampala n'ategeeza nti bizinensi nnyingi zikyalemye okugoberera essaawa ezaabalagirwa okuggalawo ne bawa abakozi beebikolobero omwagaanya okuzza emisango.
Bizinensi zino zibadde zikola okutuusa ekiro ku ssaawa ze baagadde nga kino Enanga agambye nti kikomye kubanga ababbi bakozesa ekiseera kino ne bazza emisango n'alabula bonna abamenya ebiragiro pulezidenti bye yawa bwe yali agonzaamu ku bukwakkulizo bw'omuggalo.
Pulezidenti bwe yali awa ebiragiro ku kafiyu yategeeza nti bodaboda zirina okukoma okukola ku ssaawa 12:00 ez'olweggulo era Enanga yalabudde aba boda nti bagenda kukwatibwa bavunaanibwe okumenya ebiragiro kubanga basussizza okuvuga amatumbibudde.
Ayongeddeko nti wadde babadde bagezaako okukwata aba boda naye okutandika ne leero (Olwokubiri) tewakyali lusaago nga bagenda kukwatibwa okwetooloola eggwanga era ssinga banaakwatibwa nga bavuga ng'essaawa ezaabaweebwa ziyiseeko.
Abatambulira mu mmotoka ez'obwannannyini ssaako ebidduka ebirala nabo bagenda kukwatibwa ssinga basangibwa nga bavuga okusukka essaawa 3:00 ez'ekiro kubanga mu kiseera kino abantu bongedde obulagajjavu ekivuddeko obulwadde okweyongera okusaasaana.
Yannyonnyodde nti n'abo abatambulira mu mmotoka ez'obwanannyini n'ezolukale omuli ttakisi nga tebambadde masiki bonna baakukwatibwa bavunaanibwe okumenya ebiragiro n'okukola ebikolwa ebiviirako okusaasaanya obulwadde.
Poliisi era eyongedde amaanyi mu kulwanyisa abantu abatayambala masiki era Enanga yagambye nti poliisi egenda kubeera erawuna okulaba abanaaba batatuukirizza biragiro ebyo.
Pulezideti Museveni n'abakugu mu by'obulamu bazze balabula Bannayuganda okwettanira okwambala masiki okutangira okusaasaana kwa Corona kyokka Enanga yagambye nti abantu balagajjadde nnyo nga kyetaaga amateeka n'ebiragiro bitandike okukola okumalamu abantu emputtu.