Abaserikale abaabadde mu ngoye eza leeya basazeeko omusajja obwedda abantu gwe bayita Swahaba (yabadde ayambadde ekkanzu) ne bamukwata n'okumukunguzza okumutwala ku poliisi ya CPS abeeko ensonga zannyonnyola.
Loodi ono yabadde agezaako okuwalira ne bamukwata amataayi n'okumusika ekkanzu katono bagiyuze ng'ate bonna bakambwe okukira ennumba.
Bino byabadde ku luguudo lwa William mu Kampala ku Lwokutaano. Owoolugambo waffe atugambye nti waliwo eyabadde amulopye ku misango gye tutaategedde.