Saturday, November 28, 2020

Abavubuka babaleetedde akuuma akakebera siriimu mu kamwa

Abavubuka babaleetedde akuuma  akakebera siriimu mu kamwa

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza kaweefube w'okukebera abavubuka siriimu mu munisipaali y'e Makindye.

Batongozza akuuma akapya ak'okukebera akawuka ka mukenenya ng'osobola okukayisa
mu kamwa ng'akasenya mu kifo ky'okukuggyako musaayi nga bakozesa empiso.

Richard Asingwire eyakuliddemu kaweefube ono yagambye nti akuuma akaaleeteddwa
kalungi n'akubiriza abavubuka okwekebeza.

Kasim Ssekimpi, ssentebe LC 1 e Lukuli, Makindye yasabye abavubuka okujjumbira enkola eno.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts