Amagye gayiiriddwa mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo okugumbulula abantu ababadde batandise okwekalakaasa n'okukola effujjo nga bookya ebipiira n'okwonoona ebintu.



Kiddiridde poliisi okukwata Pulezidenti w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine avuganya ku bwapulezidenti ne bamutwala mu kaduukulu e Nalufenya gyakuumirwa.

Effujjo lino libadde ku Nasser Road mu Kampala, ku kibangirizi kya Ssemateeka, ewa Kisekka, e Kireka n'ebitundu ebirala.