Saturday, November 14, 2020

Anaasuubula enseenene osaanye okumanya bino

Anaasuubula enseenene osaanye okumanya bino

BULI mwezi gwa November lwe gukuba kkoodi Bannayuganda bangi ng'otwaliddemu n'abali ebweru w'eggwanga baba mu keetalo ka kulya ku nseenene.

Bangi okukwata enseenene ssaako n'abo abaziteegera mu bibuga baagufuula mulimu ng'abamu balina n'ebyobugagga bye babala bye bakozeemu.

Ng'oggyeeko akatale k'abazirya wano mu ggwanga nga ke kasinga obunene, waliwo ezo ezitwalibwa mu mawanga g'ebweru eri Bannayuganda nabo abaziwoomerwa.

Wabula embeera eyaleeteddwa endwadde ya Corona abantu ababadde batwala enseenene batambula kitono ate nga be babadde basinga okuzipaaluusa emiwendo naddala nga zizze ntono ku katale kyokka nga ku mulundi guno kiyinza obutasoboka.

Ku Lwomukaaga oluwedde abasuubula enseenene baatandiikirizza okuzireeta mu Kampala wabula nga zikyali ntono era nga ziri ku buseere.

OKUNOONYA AKATALE K'ABAGUZI
Okufaananako n'abasuubuzi abalala, abali mu mulimu gw'enseenene ekiseera kituuse okulagawo eby'enjawulo mu mulimu guno.

Eky'okulinda obudde okuwungeera okutandika okuzisala ebbeeyi kiyinza okubeera ekizibu sizoni eno olw'obwavu obuli mu bantu obwaleetebwa embeera ya Corona.

Kino kitegeeza nti oyo ali mu mulimu guno naddala abo abazikongola n'abazitunda mu ttampeko n'abo abazisiika balina okufa ku mutindo okwewala okutunda ezisuzeewo oba okuzitabika mu nsu. Kino ky'ekiseera ababadde bazitabikamu obuti n'obutungulu okubuzaabuza abaguzi nabo okukikomya kubanga kigenda kutta obwagazi bw'abazirya nga kino bwe kibaawo kikosa butereevu abali mu mulimu guno.

Mu embeera eya bulijjo ku ntandikwa ya sizoni ebifuluusi byazo bitandikira mu 500,000/- okutuuka ku 700,000/- wabula sizoni bw'enyinnyitira zikka oluusi ne zituuka wakati wa 50,000/- ne 100,000/-.

Abamu ku bazisuubula bazitunda butereevu mu baguzi mu buveera nga tebongeddeko muwendo nga batandikira ku 1,000/- okudda waggulu.

Kyokka waliwo abazongerako omuwendo nga bapangisa abazikongola okuziggyako ebyoya nga ttampeko ebeera eya bulijjo etera okubeera wakati wa 5,000/- ne 7,000/- wadde ng'oluusi zirinnya okusingawo oba okukka okusinziira ku bwe zaagudde.

Abayingidde bizinensi eno n'obumanyi sizoni egenda okuggwaako ng'abamu bafunyeemu ssente eziri wakati wa 2,000,000/- ne 7,000,0000/-
Binnyonnyoddwa Patrick Batte musuubuzi waazo mu katale ka Kabaka e Katwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts