Okuziika Ssentebe wa Bulenga- Kikaaya, Armstrong Eddward Musisi Matovu kuggweeredde mu bikonde.
Abalwanye ye Davis Ahimbisibwe difensi ku kakiiko ka Bulenga-Kikaaya n'omuvubuka omutuuze w'e Kikandwa atategeerekese mannya ge wabula nga bombi baddusiddwa mu ddwaaliro nga bazirise.



Sarah Birungi ategeezezza nti bano okuyombagana batandikidde mu kukaayana ku ani agenda okuteeka omugenzi mu ntaana engeri gye yafudde obulwadde bwa Covid 19. Oluyombo lutandise mpola ne beekuba ebitiiyo okukakkana nga beegudde mu malaka wabula omu bw'a zirise owookubiri abavubuka ne bamuyikira ne bamukuba okutuusa naye bw'azirise.
Wabula bbo abantu beeyiye mu kuziika Armstrong Musisi Matovu e Kikandwa eyafudde ekirwadde Kya Covid 19.