Wednesday, November 4, 2020

Bwe nagaanyi okunyumya akaboozi baze n'andeka mu nju n'abaana 2

Bwe nagaanyi okunyumya akaboozi baze n'andeka mu nju n'abaana 2

Omusajja ansulidde ebintu ebweru ate nga nnina abaana babiri.

Omukazi alaajanidde abazirakisa okuli maama Phiina n'abalala okumuyamba kubanga embeera gy'alimu mbi oluvannyuma lw'omusajja okumuddukako n'amulekera abaana babiri.

Christine Nansubuga  omutuuze w'e Kigungu  e Ntebe ategeezezza nti alina abaana babiri beyazaala mu bba gw'amaze naye emyaka 6.

Agamba okusooka baali baagalana bulungi naye oluvannyuma yatandika okumwecangirako n'atandika n'obwenzi ky'agamba nti kiteeka obulamu bwe mu matigga .

Ono agambye nti omwaka gumu emabega yasanga mwami we n'omukyala gw'agamba nti alina akawuka akaleeta mukenenya. Okuva olwo Christine yagaana okuddamu okunyumya naye akaboozi olwo omusajja n'atandika okumukuba nga kwatadde n'okwasa ebintu mu nju omuli n'amadirisa ate ebirala n'abimukasukira wabweru.

Agamba nti enju yagisigalamu naye talina kantu konna ate nga takola kyokka ng' alina abaana abookulabirira naye talina wadde ekyokulya oluvannyuma lw'omusajja okugaana okubawa obuyambi .

Bba bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti bino si bituufu.

Yagambye nti bulijjo omukyala ono amuwa ssente z'awaka era ng'abalabirira bulungi naye nti wiiki ewedde Christine yatandika okumwecangirako n'amugamba nti taddamu kudda waka ate nti n'abaana si yabazaala ekyamunyiiza naye naava awaka n'afuna omukazi omulala . 

Christine yagudde ku bba omusango ku poliisi y'e Kigungu Fayiro SD/08/29/10/.








Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts