OKUNOONYEREZA okupya okukoleddwa kulaga nti omuwendo gwa Bannayuganda abakozesa amazzi ga ttaapu gweyongeddeko mu mwaka gumu oguyise.
Ekiseera kino abantu ebitundu 26 ku 100 bebasobola okufuna amazzi ga ttaapu okwawukanako ne mu 2019 abantu ebtundu 19 ku 100 bokka bebaali basobola okugafuna.
Wabula okunoonyereza kwekumu kulaga nti amakkati ku bantu ababeera mu bibuga bebokka abasobola okukozesa amazzi ga ttaapu abasigadde bakozesa nayikondo n'okukima ku luzzi.
Bino byayanjuddwa Marie Nannyanzi akulira enteekateeka y'emirimu mu Twaweza Uganda ng'ayanjula lipooti gye baakoze oluvannyuma lw'okunoonyereza kwe baakoze.
Yategeezezza nti bazudde nga n'obudde abantu abakima amazzi bwe bakozesa kati bukendedde nnyo, omuntu kimwetaagisa eddakiika ezitawera 30 okukima amazzi okwawukanako n'ebiseera ebiyise wekibadde kyetaagisa okukozesa essaawa wakati wa 2 - 4 okusobola okufuna amazzi.
Lipooti baagitongolezza mu lukung'aana lwe baategekedde ku mikutu gya yintanenti olw'etabiddwamu n'abakungu nga Francis Opeduni okuva mu minisitule y'amazzi wamu ne bannabyabufuzi ng'Omubaka Robert Centenary owa munisipaali y'e Kasese.
Centenary yatageezezza nti ekimu ku bizibu bye basanze kwekubeera nti waliwo enkola ezirina okugoberera eziremesa abakulembeze okufunira abantu amazzi amayonjo kubanga ekitongole ky'amazzi kiwanvuya emitendera mwe balina okuyita okukituukiriza.
Olwabimazeeyo, Opeduni n'amwanukula nti ebyo by'ayogerako byafaayo, omwaka guno gwokka ogubaddemu Corona basobodde okuwa abantu abasoba mu 100 olukusa okusima enzizi okuteekerawo abantu amazzi.
Nannyanzi yategeezezza nti okunoonyereza kwe bakoze kuzudde nti wakyaliwo abantu abakyalemeddwa okufuna amazzi amayonjo ekibaviiriddeko endwadde ne zeeyongera ku Corona agoyezza ensi yonna.
Violet Alinda akulira Twaweza mu Uganda yategeezezza nti okunoonyereza kwabwe kye kwazudde kwekubeera nti ekimu ku biremesezza abantu okufuna amazzi amayonjo, ebifo webalina okugasanga bitono nnyo.Okunoonyereza kwekumu kwalaze nti omuwendo gw'abantu abalembeka amazzi g'enkuba gukendedde okuva ku bitundu 78 ku 100 okudda ku bantu 74 ku 100
Source