MUKYALA mukulu Nora Baseka bwe yamala okulemesa bba Martin Kisige Tibalira okugattibwa n'omukyala omulala gwe yali afunye, baagezaako okutuula mu nsonga mukyala mukulu akkirize bba agattibwe n'omukazi omulala gwe yali afunye. Mu kuteeseganya, Baseka yasaba bba amusasule obukadde 10 amuleke awase omukazi omulala.
Wabula Baseka agamba nti kino kyalema era simwetegefu kukkiriza Tabalira kuwasa mukyala muto Proscivia Nabirye nga bw'abadde ategeka. Baseka okusaba obukadde 10 agamba nti ssente ze baagulamu ettaka okuli ekizimbe kyabwe ekya BEAMTEX, Tibalira yaziggya ku maama we Margaret Bakyakunaga (ono ye nnyazaala wa Tibalira), nga tayinza kukkiriza maanyi ge kufiira bwereere. Abafumbo bano baagattibwa mu 1981 kyokka ne bafuna obutakkaanya ne baawukana mu 1985.
Oluvannyuma lw'emyaka 30 nga baawukanye, Tibalira yayisa ebirango mu kleziya ya Our Lady of Fatimah, ng'agenda kugattibwa ne Proscovia Nabirye mu bufumbo obutukuvu era wano Baseka we yasitukira n'ategeeza nti akyali mufumbo ne Tibalira.
Mu Eklezia abafumbo nga bagittibwa, bakuba ebirayiro nti okufa kwe kulibaawukanya era wano Baseka we yasinziira okulemerako nti Tibalira tajja kugattibwa na mukyala mulala ng'akyali mulamu era poliisi yayitibwa n'emulufumya ebweru nga Mmisa ekyagenda mu maaso.
Kigambibwa nti Tibalira bwe yafuna ekirowoozo ky'okuddamu okuwasa omukyala omulala, yaddukira mu kkooti enkulu e Jinja ng'asaba kkooti esazeemu obufumbo bwabwe ne Baseka. Nga March 9, 2012 Omulamuzi Flavia Anglin Ssenoga yasala omusango guno n'akkiriza Tibalira okuddamu okuwasa kubanga Baseka teyalabikako mu kkooti kuwaayo kwewozaako kwe.
Omulamuzi Ssenoga bwatyo yasazaamu obufumbo bwa Baseka ne Tibalira era n'alagira buli ludda okwesasulira ssente ze lwali lusaasaanyizza mu musango. Kkooti era yalagira obutabaawo kujulira kwonna kulina kukolebwa nga kuwakanya ensala y'Omulamuzi Ssenoga bwatyo Tibalira n'aweebwa olukusa okuwasa omukazi yenna gw'aba ayagadde.
Baseka n'abaana be balumiriza bannaddiini abatwala klezia ya Our Lady of Fatima, Tabila ne Nabirye gye baagenda okugattibwa nti tebafuddeeyo kusooka kugonjoola ensonga za Baseka. Betty Alikoba, muwala wa Baseka agamba nti okuva nnyaabwe lwe yavaayo okuwakanya obufumbo bwa Tibalira ne Nabairye, Klezia yatandika okubasosola n'alumiriza abakulu abamu okubeera ne kyekuubira mu nsonga zino.
Alikoba agamba nti nnyaabwe okusituka mu Mmisa nga basomye ekirango yakola kituufu ne yeewuunya ekyaleesa abaserikale okufulumya Baseka ng'ate yali yeemulugunya ku kirango nga Klezia bweragira ng'ekirango kisomeddwa. Kigambibwa nti nga October 15, 2020, Fr. Vincent Ndada yawandiikira Omusumba w'e Jinja, Charles Wamika ng'amutegeeza nga bwe kitali kituufu kukkiriza Tibalira kugattibwa mu bufumbo obulala n'amusaba ayongere okuwabula kyokka ebyavaamu tebyategeerekeka.
Mu bbaluwa ya Faaza Ndada agamba nti teri kintu kyonna kya nsi kiyinza kusazaamu bufumbo butukuvu okusinziira ku nsomesa ya Eklezia okuggyako okufa. Abaana ba Baseka balumiriza Faaza Paul Okello okubeera emabega w'okusindiikiriza Eklezia ekkirize okugatta Tibalira mu bufumbo obulala wadde nga waliwo okwemulugunya kwa Baseka.
Margaret Mutesi naye agamba nti bagezezzaako okutuukirira Omusumba Charles Wamika wabula tebayambiddwa, ate ne mu kkooti eza bulijjo tebafunyeyo bwenkanya. Bano era bawakanya ensala y'Omulamuzi Ssenoga nga bagamba nnyaabwe teyayitibwako mu kkooti kwewozaako era tebaamanya ku bya musango Tibalira gweyawaaba.
Bagamba nti ekya Klezia obutalanga nnaku embaga kw'eneebeererawo kiraga nti kyebakola bakimanyi kikyamu kubanga bulijjo ennaku zoogerwa ng'embaga erangibwa.