AGNES Nakavuma, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi ne kamuyuza omukono e Makindye alaajanidde abazirakisa okumuyamba alongoosebwe.
Yakubibwa nga poliisi egumbulula abawagizi b'omu ku beesimbyewo ku bubaka
bwa palamenti e Makindye nga October 15, 2020.
Ono yakaabizza Judith Heard, omu ku bakazi abamanyidwa ennyo mu kulya ensimbi mu Kampala bwe yagenzeeyo okumulaba e Nsambya - Kirombe.
Nakavuma yagambye nti ayita mu bulumi bungi kyokka talina mulimu gw'asobola kwekolera. Judith Heard yasabye Bannayuganda okusitukiramu basondere
Nakavuma ssente obukadde 4 n'emitwalo 70 ze yeetaaga okulongoosebwa.
Nakavuma alaajanidde Pulezidenti Museveni, Maama Fiina ne Bannayuganda
okumudduukirira afune obujjanjabi. Essimu eri 0708018281.