
Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo n'awagira Magie Kayima (Nabbi Omukazi) okusaba obukadde obusoba mu 700 ku mmaali ye gw'agamba nti yali bba omugenzi Paasita Yiga.
Nalukoola agamba nti Nabbi Omukazi yakolera TV ya Yiga eya ABS akalango ke bakyakozesa naye teyafuna wadde ekikumi.
Ayongerako nti yakolera ne TV eno pulogulaamu kw'etambulira era nazo ssente bayinza okuzisaba.