Tuesday, November 10, 2020

Makanika afiiridde mu kabenje ku lw'e Masaka

Makanika afiiridde mu kabenje ku lw'e Masaka

MAKANIKA Ssaalongo  Samuel  Kasagga afiiridde mu kabenje akaguddewo ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo mu Ttenga kiromiita ttaano okutuuka mu kibuga Masaka.  Kasagga abadde asuubula ebimmotoka ebikadde n'abitema sipeeya gw'atundira mu kabuga ka Nyendo.   

Emmotoka ya Kasagga yakutuseemu bibiri.

Omugangatika gw'ekimmotoka nnamba UAB 130 Q mw'afiiridde abadde ava kukisuubula ku Sadaati ow'e Mpugwe.    Atomeraganye ne Landcruiser nnamba UAG 393K esensembudde ekimmotoka n'ekyawukanya ne yingini era Ssaalongo Kasagga tavuddewo.     

Ekitundu ky'emmotoka ya Kasagga. (Ebif. Bya Ssennabulya Baagalayina).

Mu badduukirize muggyiddemu n'ab'e Mpugwe abategeezezza nti Kasagga baamulabudde obutavuga kimmotoka kino ku luguudo kuba tekisiba nga n'abasirikale bajja kumukwata kyokka n'awalaza empaka.    Baagambye nti azze asalinkirizza mu makubo g'ebyalo n'akuba abaserikale ekimooni ng'abadde yakaguka ku kkolaasi ayolokera mu Nyendo gy'alumbidde Landcruiser n'emumalawo.

Omukyala ng'akaabira Kasagga.

Banne babiri baabadde nabo baddusiddwa mu ddwaliiro e Masaka nga bataawa.      Mukyala we Regina Nakyanzi atuukidde mu miranga kyokka ne bamuggyawo ng'atandise okuzirika.  Poliisi y'ebidduka okuva e Masaka ereese kasiringi n'eggyawo ebipampagalu by'ekimotoka ne Landcruiser n'ezitwala e Masaka.     

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts