PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi ezaakosebwa omuggalo gwa Corona.
Okwogera bino yasinzidde mu disitulikiti ye Sironko ku ssomero lya Masaba SS mu lukungaana lwa kampeyini z'obwapulezidenti olwetabiddwaamu abakulembeze ba NRM ku mitendera egy'enjawulo okuva mu disitulikiti ye Bulambuli ne Sironko.
Museveni yagambye nti abantu b'omu Bugisu abalina bizinensi ezaakosebwa ennyo mu biseera eby'omuggalo be bamu ku bagenda okuyambibwako.
Mu ngeri y'emu yabasuubizza amazzi ga ppayipu amayonjo agakozesebwa awaka wamu n'amazzi ag'okweyambisa okufukirira ebirime.
Ensonga y'okubakolera enguudo nayo yagikoonyeeko n'abategeeza nti ku mulundi guno
ensonga eziruma abantu ze zigenda okusinga okuteekebwako essira kwe
kusaba ababaka ba Palamenti okwewala okuyimbagatanya ebintu ebingi wabula
basoosowaze ensonga ezikwata ku muntu waabulijjo.
Museveni yatumye abakulembeze ba NRM okunnyonnyola abantu ebirungi NRM byekoze era babategeeze nga kati bwe waliwo ssente ezimala ezisobola okugonjoola ebizibu ebisinga ebibadde bikyanyigiriza abantu ba wansi.
Yakubirizza Bannayuganda okuzuukuka beenyigire mu bulimi obuvaamu emmere ey'okulya wamu n'okutundako okusobola okubaako ne ssente mu nsawo.
Yennyamidde olwa bbanka eziyitirizza okunyuunyuuta abantu nga gabaggyako amagoba
amangi ku ssente ze babeera beewoze n'ategeeza nti ekizibu kino kyakugonjoolwa mu
nteekateeka ya Gavumenti ey'emyooga kuba abantu bajja kuba baweebwa ssente ez'okutandika n'okwongera mu bizinensi zaabwe kibayambeko okukendeeza okuddukiranga mu bbanka okwewola.
Bwe yabadde tannatuuka Sironko, Pulezidenti Museveni yasookedde Muyembe mu disitulikiti y'e Bulambuli n'atongoza okukola oluguudo lwa Muyembe - Nakapiripiriti
oluweza kkiromita 92.
Enguudo endala ze yakoonyeeko okukola kuliko; Nalugugu- Budadiri- Mutufu, Namagumba - Budadiri- Nalugugu ne Nabumali - Butaleja - Namutumba Yagambye okwongera okukola lye ddongoosezo ly'amazzi erya Sipi Water Supply erigenda okubeera erya maanyi nga ligabira ebimu ku bitundu mu Bugisu ne Teso okufuna amazzi g'emidumu.
Source