KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga agambye nti Obukulembeze bw'Obwakabaka busaanye okussa essira ku nsonga ezikwata ku bantu naddala okulwanyisa obwavu n'obumu Buganda okuvunuka ebigisomooza.
Yabadde aggalawo omusomo ogw'omulundi ogwokubiri ogw'okubangula abakiise mu lukiiko lwa Buganda ogwabadde ku Buganda Royal Institute e Kakeeka-Mmengo ku Mmande. Yagambye nti ebikwata ku bantu bwe bataabisosowaze, baakubava mu ngalo, bakozesebwe omulabe agenderera okusanyaawo Buganda.
"Tusaana okutema empenda eziyamba abantu baffe okweggya mu bwavu. Teri kinafuya Bwakabaka ng'obwavu bw'abantu. Ne bwetunayogera ebya Federo ng'omuntu talina mmere gy'alya awaka,talina ssente zigula munnyo,oyinza okwogera okutuusa enjuba lwevaayo naye omulabe ajja kumukozesa kyonna ky'ayagala," Katikkiro Mayiga bwe yagambye.
Era yavumiridde n'eky'abantu okuyiwaayiwa ssente mu kulonda n'agamba nti kiyinza okusuula ensi mu nnyanga olw'okulonda abakulembeze abataliimu nsa ng'amaanyi gaabwe gali mu ssente. Yagambye nti ababbi, abaluvvu, abalyake, abamenyi b'amateeka kati betusinza kyokka bwe batuuka mu bifo ebyo nabo balina okwongera obulyake banunule essente zaabwe.
Yabasomesezza ku mulamwa: "Buganda ey'omulembe Omutebi n'okuvvunuka okusoomozebwa." Minisita ow'ensonga ez'enkizo e Mmengo,David Mpanga yabasomesezza ku nsabika y'ensonga y'okugabana obuyinza mu Uganda eyawamu n'abasaba okwogeza eddoboozi limu ku nsonga za Federo n'abakola mu bitongole by'Obwakabaka okubeera eky'okulabirako ekinnamatiza abantu nti kye basaba kye kirungi gye bali wabula tekijja kubabonyabonya.
Abalala abaabasomesezza kwabaddeko Hajj Ahmed Lwasa, omumyuka w'omukubiriza w'olukiiko luno eyasabye abakiise bulijjo okwetaba ku mikolo egikolebwa mu masaza gaabwe n'okuwerekeranga ab'amaggombolola nga bajja mu luwalo.
Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda asooka, Polof. Twaha Kaawaase yagambye nti Buganda ey'omu maaso egenderera okunyweza Eby'obuwangwa n'ennono, okutumbula embeera z'abantu mu by'obulamu, ebyenjigiriza, obukulembeze, ebyenfuna n'okuyingiza ensimbi ezisobozesa okukuuma ebibiri ebisooka.