Sunday, November 8, 2020

Muto wamu Museveni yennyamidde olw'abantu Mzee b'ayambye ate ne bamulyamu olukwe

Muto wamu Museveni yennyamidde olw'abantu Mzee b'ayambye ate ne bamulyamu olukwe

Bino Nzeeyi Kaguta abyogeredde mu ggombolola ye Bukango mu disitulikiti y'e Bukomansimbi.

Ayitiddwa omubaka wa Bukomansimbi North Ruth Katushabe amwanjulire.ebiruma abalonzi be era abatuusize eddoboozi ewa Mukuluwe Museveni.

Katushabe ku lw'abantu be yeebazizza ebibakoleddwa n'ayanja n'ebikyabaluma ng'ebbula ly'amazzi amayonjo n'amasannyalaze agatannabuna.

Awabudde Bannabukomansimbi obuteesamba kuwerera baana baabwe mu masomero ga UPE kuba naye mwe yayitira kati mubaka wa Paalamenti.

Ssentebe wa Bigasa. LCIII Joseph Kakooza amutumye eri Pulezidenti abakwatizeeko ku ssomero ly'ebyemikono n'enkulaakulana endala.

Nzeeyi Kaguta yeebazizza abawagira mukuluwe Museveni nti obulamu bwe bwonna yabuwaayo eri Bannayuganda.

Abakunze okumuyiira.obululu n'abakwatidde NRM bbendera bonna bawangule okulonda kwa 2021.

Bya Ssennabulya Baagalayina

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts