Omulundi guno abantu 4,000 beebalina okugaba omusaayinga kuliko 1,700 abeenyigira mu kugaba omulundi ogwasooka.
Okusinziira ku Lee Man-hee pulesidenti w'ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus,enteekateeka eno yakuganyula abantu mu mawanga ag'enjawulo nga ne Uganda kweri.
Yagambye nti enteekateeka eno etandika November 16 okutuuka December 11, nga bagaba omusaayi mu kaweefube okuyegeka omusaayi gw'abo abawonye Corona gukozesebwe okujjanjaba abalala.
Omwezi oguwedde ekitongole kya Korea Center for Disease Control and Prevention kyasabye Shincheonji Church of Jesus Okwongera okukwatagana nabo mu kaweefube wokulwanyisa Corona.
Emirundi ebiri egyasooka wakati wa July ne September ab'ekkanisa eno baagaba omusaayi ne badduukirira mu kaweefube wokulwanyisa obulwadde ng'abantu 312 baagaba emirundi egisoba mu ebiri.
Kwon Joon-wook, amyuka akulira ekitongole ekirwanyisa endwadde yasinzidde ku kitebe kyabwe Central Anti-Disaster Headquarters, ng'ayogera eri abamawulire ne yeebaza ab'ekkanisa okwenyigira mu kaweefube okutaasa obulamu.
Abasinze okudduukirira kaweefube ono bava mu kibuga Daegu Metropolitan City nga bali wamu n'ekitongole kya Korean Red Cross.
Omulundi guno, omusaayi bagenda kugugabira ku kisaawe kya Daegu Athletics Promotion Center, abagaba omusaayi tebajja kuweebwa sentence yonna ng'abekkanisa bagamba bakikoze okusobola okutaasa sentence zomuwi wimusolo.
Omukungu okuva mu kkanisa yagambye nti beenyumiriza okubeera ng'omusaayi ogwasooka okugabibwa gukozesebwa okujjanjaba abantu mu kiseera kino.
Yeeyamye nti bajja kukola ekisoboka okuyambako eggwanga lya Korea okulaba nga livvuunuka ekirwadde kya Corona.