Abasawo abasaba abalwadde ssente mu ddwaaliro lya gavumenti erya Mpigi Health Centre IV ebbaluwa zaabwe zaakusazibwamu. Omuwandiisi w'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu, Dr. Dianah Atwine alagidde akulira abakozi mu Mpigi (CAO) okusazaamu ebbaluwa y'omusawo yenna anaakwatibwa nga aggye ku mulwadde ssente mu ddwaaliro lya gavumenti kubanga kimenya mateeka.
Kino kiddiridde abalwadde n'abakazi abazaalira mu ddwaaliro lino okwekubira enduulu eri abakulembeze baabwe ab'e Mpigi olw'abasawo abasusse okubakanda ssente. Bino olwagudde mu matu ga Dr. Atwine n'asitukiramu ne ttiimu okuva mu minisitule y'ebyobulamu Dr. Henry Mwebesa ne basalawo okusazaamu ebbaluwa z'abasawo bonna abanaakwatibwa mu kikolwa kino.
Atwine ategeezezza nti mu kulambula eddwaaliro lino bakizudde ng'ekifo ewazaalirwa kifunda okusinziira ku muwendo gw'abakazi abazaalirayo gattako obutabeera na basawo bamala n'asuubiza okukola ku bizibu bino.
RDC wa Mpigi, Rosemary Byabasaijja ategeezezza nti wadde ng'eddwaaliro lino Pulezidenti yalisuumusa okudda ku mutendera ogwa Regional Referal Hospital olw'omuwendo gw'abalwadde oguli waggulu , teririna bulungi bikozesebwa n'asaba Dr. Atwine okubayambako mu bwangu empeereza erongooke.