Thursday, November 12, 2020

Kanyamunyu asibiddwa emyaka 5 olw'okutta Akena

Kanyamunyu asibiddwa emyaka 5 olw'okutta  Akena

Mathew Kanyamunyu ogw'okutta  Kenneth Akena gumusse mu vvi n'asibwa emyaka 5 n'omwezi gumu.

Kanyamunyu y'akulira kkampuni ya Quantum Express Logistics  

Kino kiddiridde balooya be okusooka okuteeseganya n'omuwaabi wa Gavumenti, Kanyamunyu aweebwe ekibonerezo ekisaamusaamu kubanga teyagendera kutta Akena. 

Omulamuzi wa kkooti enkulu Steven Mubiru yamuwadde ekibonerezo kino.
Mu birala omulamuzi bye yasinziddeko okumuwa ekibonerezo kino mwabaddemu; eky'okuba nga yamala emyezi 11 ku limanda e Luzira, gwe mulundi gwe ogwasooka okuzza omusango, alina ffamire ey'okulabirira n'ekyokuba ng'alina obulwadde bwa pulesa obumutawaanya. 

Ate ye muganzi we Cynthia Munwangari ateereddwa oluvannyuma lw'omuwaabi wa gavumenti okumuggyako emisango gyonna. 

Gye buvuddeko Kanyamunyu yeegayirira abakulembeze ba Acholi bamusonyiwe olw'okutta Akena. Omukolo guno gwakolebwa David Onen  Acana II mu kifo kya Ker Kwaro Acholi

Kanyamunyu, ng'ali ne muganzi we Cynthia Munwangari,   batta Kenneth Akena mu 2016 nga bamuvunaana okukalabula emmotoka yaabwe. Akena yali mulwanirizi wa ddembe ly'abaana ng'akolera mu kitongole kya ACODER e Kasese .

Okusinziira ku poliisi bino byali okumpi n'ekibanda ky'emmotoka ekya Malik Car Bond ku Kampala-Jinja road.

Wabula omulamuzi yasabye Kanyamunyu bw'aba tamatidde na nsala ya kkooti wa ddembe okujulira.

Ate ye muganda we, Joseph Kanyamunyu avunaanibwa okutwala baasitoola eyakozesebwa mu kutta Kanyamunyu n'agikweka era ono ng'ayabibwa omukuumi mu kifo kino.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts