OBULUNZI bw'enkoko mulimu ogwetaagamu obuyiiya bw'oba waakugufunamu. George Ssemugenyi, 60, omutuuze e Mpangala-Buddo mulunzi wa nkoko ez'amagi, embizzi, embuzi n'okulima.
Ssemugenyi agamba nti yatandikira mu kulima kwokka ng'alima kasooli, muwogo, amatooke nti kyokka yalina ekirooto ky'okulunda enkoko era mu 2012 yasalawo okuteeka mu nkola ekirooto kye eky'okulunda enkoko z'amagi nga yatandika n'enkoko 70 zokka naye leero yeenyumiriza w'atuuse kubanga alina enkoko ezisoba mu 1500 ku ffaamu ye.
Buli luvannyuma lwa wiiki ntunda ttule ezisoba mu 100 nga Okulunda enkoko kunnyambye okukyusa obulamu buli ttule ngitunda 8,500/-kyokka ssinga omuntu ajja ng'ayagala nkoko ezo buli emu ngitunda 15,000/- ne 17,000/-nga kisinziira ku bungi bw'enkoko by'oyagala okugula.
AKATALE Abantu ku byalo ebituliraanye omuli Maggwa, Kabinja, Nakasozi n'ebirala be nguza amagi ate n'abasuubuzi ab'enjawulo bajja nga baganoonya.
OBUYONJO KIKULU MU KULUNDA ENKOKO Ssemugenyi agamba nti ssinga omulunzi w'enkoko tafaayo kuyonja kiyumba buli lunaku yandyekanga ng'obulwadde buzirumbye ate n'afiirizibwa. Ssemugenyi agamba nti omulunzi yenna okufuna mu nkoko olina okulaba nga ziriira mu budde okukuwa ekiwera.
NNUNDA N'EBISOLO EBIRALA Okulunda enkoko si gwe mulimu gwokka gwe nkola wabula nnunda embizzi era kati ku ffaamu yange nninako embizzi ezisoba mu 20 nga buli kyana eky'omwezi ogumu nkitunda 130,000/-ate enkulu ntundira wakati wa 400,000/- ne 600,000/-. Kuno ngattako okulanda embuzi, ekinnyamba okufuna ekiwera ne nsobola okweyimirizaawo n'abantu bange.
OKUYAMBA ABALALA Nnina omukozi omu owenkalakkalira gwe nsasula 100,000/- buli mwezi wabula nnina n'abakozi abalala abannyambako mu mirimu egitali gimu nga bano mbasasula okusinziira ku mirimu gye baba bakoze.
Abaana n'omukyala bannyabye naddala mu kaseera kano nga bonna bali waka era nga ssente zonna ze nnaalisaasaanyirizza ku bakozi nsobodde okuzikolamu ebintu ebirala .
EBISOOMOOZA Emmere yaazo erinnya kumpi buli lukya nga kale olina okuba omuyiiya ennyo okusobola okulaba ng'emmere ebeerawo nkoko zisobole okubiika