Friday, November 13, 2020

Oluzadde abaana 3 bba n'adduka

Oluzadde abaana 3 bba n'adduka

Ssemaka ataddeko kakokola tondekanyuma mukazi we bw'azadde abaana basatu be ddu.

Maggie Nampeera omutuuze w'e Masanda Kyengera mu ggombolola y'e Nsangi mu Wakiso y'atubidde n'abaana basatu oluvannyuma lwa bba Emma Kiwanuka okukimanya n'asalawo kudduka.

Nampeera agamba nti agezezaako okuddukira mu booluganda be okulaba ng' afuna obuyambi naye tayambiddwa kyokka ng'alina n'abaana abalala.

Ategeezezza nti bamugobye ne mu nju mwe babadde basula olw'okulemelerwa ensimbi z'obupangisa nga abadde abudamizibwa mukyala munne naye ng'ameleddwa.

Alaajanidde Maama Fiina, ababaka ba paalamenti n'abalala okumuyambako.

Doreen Namazzi ng'ono yabadde amubudamya ategeezezza nti naye atuuse n'atendewalirwa kuba n'omulimu gw'akola gwa bbaala ate nga ensangi zino ebbaala zaggalwa .

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriaano Patrick Onyango obuzibu abutadde ku basajja basemugayaavu abataagala kukola nga ate okuzaala basobola olwo ne batuuka ne batendewalirwa era n'abalabula okukomya omuze guno.

Ono agasseeko nti ssinga omukyala yenna asanze okusoomoozebwa kuno addukire mu mbuga z'amateeka ayambibwe.


Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts