
Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno mwe mwabadde abawagizi be okudduka.
Waliwo eyeewuunyisizza abantu bwe yabuuse abaserikale ba poliisi nga yeetaasa okumukwata. Napoliisi basigadde beewuunya ono gye yatendekerwa okuyiga okubuuka n'ekinyonyi.
Wabula waliwo n'owapoliisi eyavudde ku mmotoka n'agwa nga balondoola Bobi Wine eyabadde e Bundibugyo, Bunyangabo ne Kasese ku Lwokubiri.