Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence ng'abuuzibwa akana n'akataano ku bigambibwa nti y'omu ku beenyigira n'okukunga abantu okwekalakaasa mu bwegugungo obwaliwo wiiki ewedde mu ggwanga poliisi bwe yali ekutte Bobi Wine.
Yabadde akunyizibwa Chris Ddamulira akulira ekitongole kino era oluvannyuma baamutadde kyokka nga bamutaddeko obukwakkulizo obukakali omubadde n'okumulabula obutaddamu kwenyigira mu bikolwa by'obumenyi bw'amateeka.
Baamutegeezezza nti okumutta adde awaka tekitegeeza nti talina musango wabula baakikoze okufuna obudde obumala okwongera okumunoonyerezaako era bajja kuddamu bamuyite.
Walukagga oluvudde e Bukoto asibidde mu maka ge e Maya ku luguudo lw'e Masaka gye tumusanze n'omu ku baana be era ono ategeezezza nti leero lwe lusoose okudda eka oluvannyuma lw'ennaku ssatu ng'aliira ku nsiko.
"Bwe baafulumya ekiwandiiko nti poliisi enoonya natya nnyo ne nsalawo okubaako we neekukuma. Bwe baayongedde ekiwandiiko ekirala nga bampadde nsalessale wa Mmande okweyanjula ku poliisi kwe kugendayo.
Ku bya ttiyaggaasi gwe baamukubira e Nalufenya: Walukagga agamba nti, ‘'abasajja bankola ekintu ne bandeka nga ntaawa. Buli lwe nagezangako okutunula nga ndaba Abazungu abansala mu maaso era mu kiseera ekyo natandikirawo okufumintiiriza nga bwe nzijjukira abasajja nga Dr. Kizza Besigye ne Bobi Wine abazze bakubwa ttiyaggaasi olutatadde''. Okusinziira ku kye nawulidde, bano beetaaga okuwa ekitiibwa.
Source