
Armstrong Musisi ssentebe wa LCI e Kikaaya- Bulenga afudde nga kigambibwa nti afudde obulwadde bwa Covid 19.
Musisi afudde kawaungeezi k'olwaleero. Ono yafunyeemu obugonvu era n'addusibwa mu ddwaaliro e Mulago gye yafiiridde. Wabadde wayise wiiki bbiri zokka ng'afiiriddwa mwannyina eyategeerekeseeko erya Bukirwa ono ye yayabise omutima.