Thursday, November 26, 2020

Vision Group ekoze amagoba ga buwumbi

Vision Group ekoze amagoba ga buwumbi

KAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde erangiridde nga bwekoze amagoba ga  buwumbi bubiri n'obukadde 700 mu mwaka gw'ebyensimbi ogwaggwa,  mu kiseera  nga bizinensi nnyingi ziri mu kusoberwa olw'obulwadde bwa Corona. 

Bino birangiriddwa mu lukiiko ttabamiruka olwe 19 olwa buli mwaka  olwa kampuni olwetabiddwamu abaddukanya n'abalina emigabo mu Vision Group.  Olw'okwewala okusasaanya Corona abaalwetabyemu baasinzidde mu bifo byanjawulo.

 Augustine Tamale akulira eby'ensimbi mu kampuni agambye nti omwaka ogwaggwaako nga June 30, 2020, Vision Group yakola amagoba ga buwumbi buna n'obukadde 900. Kyokka bwe baggyako emisolo baasigazaawo obuwumbi bubiri n'obukadde 700.  

Abalina emigabo mu kampuni nabo tebagenda kuviiramu awo kuba bagenda kusasulwa amagoba ga shilingi 18 ku buli mugabo. Zaakendedde okuva ku 25 ezaagabwa omwali guli.  

Olukiiko luyisizza ebiteeso ebyakubiddwako akalulu era ne  bisembebwa okubabadde okwongeza ensako ssentebe  w'olukiiko olufuzi z'afuna buli luvannyuma lw'emyezi esatu okuva ku 1,600,000 okutuuka ku 3,200,000.

 Ensako ya badayirekita abalala nayo yalinnyisiddwa okuva ku kakadde kamu n'emitwalo 35 okutuuka ku bukadde bubiri n'emitwalo 70 buli luvannyuma lwa myezi esatu.  

Bassentebe  b'obukiiko obwenjawulo bagenda kufunanga ensako ya bukadde bubiri n'emitwalo 90 buli luvannyuma lwa myezi esatu.  

Ensako esasulwa buli lutuula eya ssentebe  w'olukiiko olufuzi erinyisiddwa okuva ku mitwalo 813,000 okutuuka ku 1,600,000/- Badayirekita bajja kufunanga 1,350,000/- okuva ku 677,000 ate bassente b'obukiiko bafune 1,400,000/-.  

Patrick Ayota ssentebe w'olukiiko olufuzi olwa Vision Group yawolerezza ekyokwongera ensako y'abadayirekita n'abakulira olukiiko kuba babadde bamaze emyaka ena nga tezongezebwa. Ekyokubiri ssente zino ntono bwogerageranya n'ebitongole ebirala ze basasula.

Keto Kayemba amyuka omubalirizi w'ebitabo bya Gavumenti yagambye nti beekenenyezza ebitabo bya Vision Group ebikwata ku nyingiza n'ensasaanya ya ssente  omwaka oguwedde ne bakizuula nti byonna byatambulira mateeka.  

Robert Kabushenga akulira Vision Group agambye nti eggwanga bwe lyalumbibwa ekirwadde kya Corona baalwana nnyo okulaba nga kampuni teggalawo. 

Mu bye baakola mwalimu okusala ku misaala gya bakozi, okuggalawo egimu ku mikutu egyali tegikola magoba, okukendeeza ku muwendo gwa bakozi, okuteekawo enkola y'okukolera ewaka n'ebirala. Bino byayamba kampuni okukendeeza ku ssente ze yali esasaanya. 

Kabushenga yaggumizza abalina emigabo nga kampuni  bwekyakola obulungi wadde nga wabadderwo okusomoozebwa naddala mu mwaka guno.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts