Thursday, November 26, 2020

Mukomye okwesosola mu mawanga - Sseggona

Mukomye okwesosola mu mawanga - Sseggona

OMUBAKA Medard Lubega Sseggona alabudde Bannayuganda okukomya okusosola mu mawanga ekiyinza okuvaako obutabanguko mu ggwanga. Okwogera bino yabadde ku kitebe ky'abannamawulire ekya UJA e Kawempe ku Lwokuna.

Asabye bannamawulire okufunayo emirimu egiyingiza ssente buli lunaku basobole okugaziya enfuna yaabwe nga bwe balinda ssente z'omusaala ez'omwezi kubanga abasinga bafuna ntono bw'ogeraageranya n'embeera eri mu ggwanga.

Yakubirizza bannamawulire abatannaba kuwasa n'okufumbirwa okufuna ababeezi kubanga kyekimu ku bijja okubafuula ab'obuvunaanyizibwa n'okwekulaakulanya. Era yabasabye okukola emirimu gyabwe n'obuvunaanyizibwa n'okwewala okulya enguzi.

Yagasseeko okusaba Gavumenti okukyusa mu ngeri gyezannyamu eby'obufuzi embi ekiyinza okuviirako Bannayuganda okwekyawa ne batwalira amateeka mu ngalo  nga bagezaako okwerwanako ekiyinza n'okuvaako obuzibu mu kulonda okubindabinda. Yavumiridde n'abantu abataali mu yunifoomu y'amagye abaakwata emmundu mu kwekalakaasa okuwedde.

Yategeezezza nti bamaze okuggulawo emisango ku baserikale ssekinnoomu abeenyigira mu kutta abantu mu kwekalakaasa okuwedde ng'essaawa yonna baakuvunaanibwa mu mbuga z'amateeka.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts