OMUKUBI w'ennanga, Henry Mayanja akomyewo na nkuba empya. Afulumizza oluyimba olusuusuuta pulezidenti n'ekibiina kya NRM n'asaba abbo bwe batawagira kibiina kye kimu obutamulumba kuba buli muntu alina ekimusanyusa ne kyayagala.
Oluyimba mwatadde ‘ebirungo' ne vidiyo ey'omulembe eraga ebimu ku bintu pulezidenti Museveni by'akoze alutumye ‘Amba'. agamba nti ng'ogyeko okuba olw'eby'obufuzi lulimu eby'okuyiga bingi.
"Kituufu tewali muntu atukiridde naye tulina okweteekamu omutima ogusiima ebyo omuntu byabeera akoze ne bwe biba bitono.
Emyaka pulezidenti Museveni g'amaze mu buyinza ndaba alina bingi byasobodde okukola kale bwenvaayo nga Mayanja omuyimbi era omuwangizi wa NRM okumusiima mu mbeera eno ndowooza mba sirina musango gwenkoze." Mayanja bwe yagambye.
Bwe yabuuziddwa oba naye anoonya ssente nga Ronald Mayinja n'abalala abakoze ennyimba za NRM ne basasulwa yazzeemu nti
"bwe bampa ssente mu mbeera y'okusiima sizigaana naye omulamwa gwange omukulu kusiima pulezidenti ate luno si lwe luyimba olusoose. Maze ebbanga nga muwagira n'enyimba nga nziyimba. mu 2010 nakuba oluyimba ‘Movement long live' kuno kwosa n'enddala."
Bw'atuuse ku mbeera gye bayitamu ng'abali mu nsike y'okuyimba, yagambye nti "nze n'abayimbi abatono abayimba ku mikolo tulinawo ku njawulo nti bateera okutupangisa ne tukola wadde nga ssente bazisaala nnyo ate n'emikolo mitono naye bannafe abasinga bali bubi kale nsaba gavumenti yaffe etulowoozeko nnyo tuddemu okukola"