Musajja mukulu Jackson Ssendege 78, ne mukyala we Sarah Nabakolaki 60, mmotoka yaabwe egudde mu kinnya n'ebawabako n'egwa mu luwonko katono bafiiremu. Babadde n'omwana waabwe nga bagenda okugula ennyama ya Ssekukkulu.
Abaalabye akabenje kano nga kagwawo batugambye nti muzeeyi ono abadde aweta mmotoka n'egwa mu kinnya ekiri mu kkubo n'ekiddiridde kugwaayo. Mmotoka eno nnamba UWS 499 kika kya Randrover. Abantu abaabadde okumpi be baabasiseemu.
Muzeeyi Ssendege avumiridde abakulembeze abatakola makubo n'obutakola myala egitwala amazzi n'agamba nti kiyinza okuviirako mmotoka nnyingi okufuna obubenje n'abantu okufa.
Embeera ebasukkiriddeko ne batuula wansi mu birowoozo. Mu bantu abazze okubadduukirira kubaddeko Kansala Kasato Sayirasi ne Kansala Twaha Ssekamatte abaasabye Yinginiya okukola enguddo kubanga zigenda kubattira abantu baabwe era kino ekinnya kyakagwamu emmotoka 7 ng'abantu bawona buwonyi.