Wednesday, December 9, 2020

'Abagole' bafiiridde mu kabenje

'Abagole' bafiiridde mu kabenje

Omusajja abadde agenda okuwasa omukyala nnamba bbiri afudde n'omugole mu kabenje.   Ekikangabwa kino kigudde ku kyalo Malongo mu disitulikiti y'e Lwengo mmotoka y'amagye eyabadde edduka emisinde ng'eva Mbarara edda Masaka bwe yatomedde pikipiki abantu basatu kwe baabadde ne bafa nga baakatuusibwa mu ddwaaliro e Masaka.

Abamu ku bakungubazi nga bali mu lumbe.

Akabenje kano kaaguddewo mu kabuga k'e Kyazanga, Mpagi Ronald ne mukyala we eyabadde n'omwana omuto bwe baatomeddwa mmotoka ne bafa. Wabula famire y'omugenzi ekkukkuluma ku nfa y'omuntu waabwe gwe bagamba nti yafudde ng'embuzi kubanga abaabatomedde baagenze bugenzi wadde okwetonda.

Abamu ku bakungubazi mu lumbe.

 Nnamwandu omusajja gwe yalekedde abaana alaajanidde Pulezidenti Museveni okumuyamba kuba bba amulese mu kazigo. Taata w'omugenzi era nga ye ssentebe w'ekyalo Kayimirawo, Muzeyi  alaze obulumi bwe boolekedde n'asaba abaakoze ekikolwa kino okuvaayo ng'embeera tennaba kusajjuka.

Mmotoka eyakoze akabenje egambibwa okuba nga yabadde ku konvooyi ya Pulezidenti Museveni nga bava okusaba obululu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts