OLUVANNYUMA lw'obulwadde bwa Ssennyiga omukambwe okweyongera mu ggwanga, gavumenti etandise okusomesa abasawo b'oku byalo (VHTS) engeri y'okujjanjaba abantu nga basinziira mu maka gaabwe.
Bino byanjuddwa Dr.Christopher Oundo akulira ebyobulamu mu munisipaali y'e Nakawa ku mukolo Mmeeya w'e Nakawa, Ronald Balimwezo mwagabidde masiki ne sanitayiza eri abasubuuzi b'omu butale obwenjawulo okuli n'ak'e Nakawa.
Oundo agambye nti kati obulwadde bwa Ssennyiga buli ku mutendera gwakuna nga kati omuntu asobola okubujja mu kifo kyonna eno y'ensonga lwaki abalwadde beeyongera buli olukya.
Agambye kati amalwaliro gajjudde abalwadde bano kati babasengejja ng'abali obubi babatwala mu ddwaaliro ate abatali bubi baakujjanjabirwa mu maka gaabwe nga beeyambisa abasawo b'oku byalo.
Omubaka wa Pulezidenti e Nakawa alabudde abantu okukomya okukakibwa okunaaba mu ngalo n'okwambala masiki kubanga kino bakikola ku lwa bulamu bwabwe.