Thursday, December 17, 2020

Abasawo basabye tuddeyo ku muggalo, abakwatibwa Covid 19 tebakyalaga bubonero

Abasawo basabye tuddeyo ku muggalo, abakwatibwa Covid 19 tebakyalaga bubonero

Abasawo abakugu mu ggwanga basabye Uganda ezzibweyo ku muggalo waakiri gwa mwezi gumu okusobola okukkakkanya obulwadde buno obutaamye ennyo mu kiseera kino.

 Abasawo bano abeegattira mu kibiina kya Uganda Medical Association (UMA), baagala gavumenti egaane abantu okutambula nga bava mu bibuga okudda mu kyalo okulya ennaku enkulu.

"Tusaba abantu baleme kugenda mu kyalo kulya nnaku nkulu, okukola obubaga bwa Ssekukkulu, obwamazaalibwa oba n'okulya obubaga ku mbalaza z'ennyanja nga bwe kitera okuba . Tusaba wassibwewo omuggalo kati okutuuka nga January 2, 2021,'' Dr. Richard Idro, akulira ekibiina kino bwe yagambye.

Bino baabyogeredde mu lukungaana lw'abaamawulire lwe baatuuzizza eggulo  ku Golf Hotel mu Kampala.

Olukungaana luno lwategekeddwa abeekibiina kya UMA , Centre for Health ne kya Human Rights and Development .

UGANDA YAAKUBIRI MU AFRIKA MU NSI EZISINGA ABANTU ABAKWATIBWA OBULADDE BUNO BULI LUNAKU

Mu kiseera kino obulwadde mu Uganda busaasaanira ku sipiidi ya waggulu nnyo. Kati Uganda yaakubiri mu Afrika mu nsi ezisinga  abantu abangi abafuna akawuka kano buli lunaku. 

Minisitule y'ebyobulamu etegeezezza nti abaakwatibwa obuladde buno bali 27,766 n'abafudde 224 .

Abasawo bagambye nti 80 ku 100 abalwala Covid 19 tebalina bubonero bwonna ekitegeeza nti abantu bangi abalwadde.

Dr. Frank Asiimwe, omwogezi w'ekibiina kino agambye nti eggwanga ssinga liddayo ku muggalo kijja kukendeeza obulwadde bwa Covid 19 okusaasaana.

Dr. Monica Musenero, ategeezezza nti omuggalo gujja kuyamba abasawo okuddamu okwetegeka obulungi basobole okulwanyisa obulwadde buno. Agamba nti omuggalo guno gwandiyambye ssinga guba mu bitundu ebimu

Musenero agattako nti mu kiseera kino ekya kampeyini  walina okubaawo ekikolebwa kubanga abantu bangi balabiddwa nga tebagoberera mateeka ga Covid 19 agassibwawo minisitule y'ebyobulamu

Idro yagambye nti abasawo bangi abakola ku balwadde ba Covid 19 tebannafuna musaala  okumala emyezi ebiri. N'agattako nti n'abasawo baagala bannaabwe abakwatiddwa obulwadde buno ne bawona oba ne bafa baliyirirwe era baweebwe n'obujjanjabi ku bwereere nga balwadde.

" Abasawo bagaala basasulwe mu budde baweebwe n'obusiimo kubanga baawulwa ku ffamire zaabwe.  Basaba n'abasawo bonna abakola ku balwadde ba Covid 19 baweebwe ebikozesebwa okwetangira obulwadde buno" bwe yagambye.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts