Wednesday, December 2, 2020

Ab'e Bukomansimbi mwewale ebikolwa eby'effujjo

Ab'e Bukomansimbi mwewale ebikolwa eby'effujjo

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala kwenyigira mu bikolwa eby'effujjo mu kaseera kano ak'ebyobufuzi.

Abatuuze nga bawuliriza RDC.

Kakooza agambye nti abavubuka bangi mu ggwanga bazze benyigira mu bikolwa ebitabazimba. Alayidde nti kikafuuwe owa ab'ebukomansimbi omwaganya okwenyigira mu bikolwa bino.

Okuvaayo n'ayogera bino kivudde ku bavubuka abazze benyigira mu bikolwa eby'effujjo n'okusosonkereza ebitongole ebikuuma ddembe mu nkung'ana za bannabyabufuzi ab'enjawulo e Bukomansimbi n'agamba nti anaakwatibwa nga yenyigidde mu bikolwa bino waakumuwuliramu omusera.

Okulabula kuno Kakooza akukoledde ku kyalo Misenyi mu ggombolola y'e Kitanda bw'abadde asisinkanye abatuuze n'abakulembeze okutema empenda z'okumalawo ebbula ly'amazzi mu kitundu kino erimazeeko abatuuze emirembe.

Mu ngeri yeemu Kakooza alaalise n'okusiba Bannabukomansimbi abeenyigidde ennyo mu kusaanyawo obutonde bw'ensi ng'agamba nti ky'ekimu ku biviiriddeko ebbula ly'amazzi okweyongera mu Bukomansimbi.

Ye Ssentebe Muhammad Kateregga asinzidde wano n'ategeeza nga disitulikiti bwe basanga okusoomoozebwa kwa ssente entono ezibaweebwa gavumenti okusaasaanya amazzi amayonjo mu kitundu kino bwatyo n'asaba be kikwatako okubongera ku ssente kibasobozese okugonjoola ensonga eno.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts