Poliisi n'amagye biyiiriddwa mu disitulikiti y'e Nakapiripirit mu Karamoja nga Patrick Oboi Amuriat agezaako okwogera n'abawagizi be mu ttawuni y'e Namalu.
Wakati mu kavuvungano, ddereeva wa Amuriat ategeerekese nga Fabian, akwatiddwa ekiwalirizza abeeby'okwerinda okutandika okukuba amasasi mu bbanga nga ttiyagaasi agaanyi okukola.
Leero Patrick Oboi Amuriat, akwatidde FDC mu kuvuganya ku bwa Pulezidenti abadde mu bitundu by'e Karamoja okubadde disitulikiti y'e Nakapiripirit, Amudat, ne Nabilatuk
Ab'e Nakapiripirit basabye Patrick Oboi Amuriat, asooke abaweeyo ku ssente balyoke bamuyiire obululu.
Wabula abategeezezza nti kino amateeka tegabakkiriza kukikola n'abasuubiza okubakolera ekkolero lya seminti n'okutumbula ebyobulamu n'amazzi mu kitundu kyabwe.
Engeri Patrick Oboi Amuriat, akwatidde FDC mukuvuganya kubwa Pulezidenti gy'anoonyezzaamu obuwagizi mu bitundu by'e Karamoja okubadde disitulikiti y'e Nakapiripirit, Amudat, ne Nabilatuk.
Source