Thursday, December 24, 2020

Bannayuganda 69 ku buli 100 baagaliza Kadaga Obwasipiika

Bannayuganda 69 ku buli 100 baagaliza Kadaga Obwasipiika

SIPIIKA Rebecca Kadaga alina enkizo ku mumyuka we Jacob Oulanyah okuddamu okubeera Sipiika mu Palamenti eddako, okusinziira ku bivudde mu kunoonyereza.

Oulanyah

Ebivudde mu kunoonyereza biraga nti abalonzi ebitundu 69 ku buli 100 balaze nti Rebecca Kadaga era omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Kamuli gwe baagala abeera Sipiika wa Palamenti enaddako. Okunoonyereza okwakoleddwa kampuni ya Vision Group okuva nga November 2 okutuuka nga 14, 2020 abantu 5,679 be beebuuziddwaako okuva mu disitulikiti 45.

Abantu 69 ku buli 100 be baagaliza Kadaga addemu alondebwe mu ntebe gy'abaddemu. Ekyagendereddwa mu kunoonyereza kwe kufuna endowooza z'abantu ku mbeera y'ebyobufuzi eri mu ggwanga nga twetegekera okulonda kwa 2021. Abakazi baabadde ebitundu 48 ku buli 100 ate abasajja baabadde 51.

Winnie Kizza.

Abaagaliza Kadaga Obwasipiika bagamba asobola, mukozi, talina kyekubiira ng'akubiriza enkiiko era nga ye mumyuka owookubiri owa ssentebe wa NRM mu ggwanga. Abalala abaanokoddwaayo ku kifo kifo kino kuliko; Jacob Oulanyah (Omoro) era omumyuka wa Sipiika eyafunye abamusemba ebitundu 11 ku buli 100.

Muhammad Nsereko (Kampala Central) ye yakutte ekyokusatu n'ekitundu 1.3 ku buli 100. Kadaga yakyogera dda nti tasuubira kuddamu kuvuganya kuba bakkaanya mu 2016 n'amulekera ng'amukakasizza nti ayagala kisinja kisembayo.

Joel Ssennyonyi.

Kyokka Kadaga mu July w'omwaka guno yategeeza nti entebe akyajagalira ddala. Abadde mubaka wa Palamenti okuviira ddala mu lukiiko lwa National Resistance Council (NRC) mu 1989, ng'akiikirira disitulikiti y'e Kamuli. Okunoonyereza kwalaze nti Winnie Kiiza (mukazi/ Kasese) abantu gwe bazzeeko okwagaliza ekifo kino n'abeera owookuna n'abantu 1.2 ku buli 100.

Waliwo n'abaagaliza omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi nga bakola 0.8 ku buli 100. Abalala be baagaliza kuliko; Ssaabawandiisi wa FDC, Nandala Mafabi (0.6), Persis Namuganza (Bukono) eyafunye 0.3, Ibrahim Ssemujju Nganda eyafunye 0.3, Dezz Baguma awagirwa 0.3, Shartis Musherure Kutesa eyafunye 0.3.

Bannabyabufuzi abalala abaanokoddwaayo bwe basaana Obwabwasipiika bwa Palamenti kuliko; omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, minisita Amelia Kyambadde, Gen. Katumba Wamala, Ruth Nankabirwa, Odonga Otto, Medard Sseggona ne Theodore Ssekikubo.

Abalala kuliko; Gilbert Oulanyah (Kilak), Kato Lubwama (Lubaga South), Abdu Katuntu (Bugweri), Francis Zaake (Mityana munisipaali), Cecilia Ogwal, Lydia Wanyoto, Muhammed Ssegirinya ne Charles Ayume (Koboko munisipaali).

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts