OKUVA November 28, abazadde babadde banoonya omwana waabwe eyabula okutuusa lwe baamuguddeko mu bikajjo nga yasalibwako omutwe.
Zibadde zikunukkiriza wiiki bbiri ng'abazadde n'abatuuze ku kyalo Bulanga mu ggombolola y'e Namungalwe mu disitulikiti y'e Iganga bayigga James Kabaale 7, eyabula ku Lwomukaaga nga November 28.
Omulambo, baaguzudde eggulo ng'abatemu baamusalako omutwe ne bagutwala, ekiwuwudu ne bakisuula mu bikajjo.
Abatuuze olwalabye ekiwuduwudu kya Kabaale abadde asoma P1 ku ssomero lya Childrens Center ne batabuka ne balumba ffamire gye balumiriza okuvaamu eyamusse.
Fatuma Nakiyuka 30, baamutaayizza ne bamutta n'ennyumba ye ne bagikoona n'egwa nga bamuvunaana kubeera mu kkobaane ly'okutta omwana.
Kabaale mutabani wa James Kabaale (agabana amannya ne kitaawe) ne Nusula Nakiyuka. Fatuma gwe basse aliko oluganda ku maama w'omwana.
Kigambibwa nti, omwana yabulira mu maka ga Edirisa Gatangaire muganda wa jjajja we azaala nnyina, Malijan Gatangaire gye yali abeera.
Jjajja wa Kabaale yagambye nti, muzzukulu we yava awaka n'agenda okuzannya ne banne ewa muganda we (Edirisa Gatangaire) era okuva olwo teyaddamu kulabika.
Yagambye nti, yatwala omusango ku poliisi n'ekwata Gatangaire n'abaana be okuli; Hamdan Waiswa, Sinan Gatangaire, Mawazi Gatangaire ne Mwaiduma Namusobya kyokka oluvannyuma ne bayimbulwa.
"Poliisi yabayimbula ate ne baggula ku ffe omusango nti tubatiisatiisa poliisi n'enkwata n'abamu ku batuuze." Jjajja wa Kabaale bwe yagambye. Yayongeddeko nti, okubata, abatuuze baamaze kwekalakaasa.
Nnyina w'omwana yagambye nti, baganda be ne bannyina okuva mu ffamire gye balumiriza okutta omwana baludde nga bamulumiriza obutabawa ku bintu bba by'amuwa n'abitwaliranga kitaawe Malijan.
Agamba nti, ateebereza ng'awo we wava empalana era baabadde bamwesasuza olw'ekyo.
Kkansala w'ekitundu Hamuza Kayigwa yeemulugunyizza olw'engeri poliisi gy'ekuttemu omusango guno nga be balumiriza okutta omwana baayimbulwa nga tewali wadde okunoonyereza okukoleddwa n'etekoma okwo n'ekwata bazadde b'omwana.
Ssentebe wa NRM e Namungalwe, Anthony Silingisi, yasabye poliisi okugenda ku kyalo enoonyereze engeri omwana gye yatemuddwa. Poliisi omulambo yagututte mu ggwanika e Iganga, omuduumizi waayo, Kenneth Mahaire n'ategeeza nti, baatandise okunoonyereza ku ttemu lino.
Thursday, December 10, 2020
Batemudde omwana abatuuze ne batta owooluganda gwe bateebereza
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...